Ebisonjozo by'Ebiruubirirwa n'ebiruubiriro(Characteristics of aims and objectives)

Bisangiddwa ku Wikipedia

From IALI NGO with authority from terminologist Charles Muwanga ! Ebiruubiro biba kumpi nnyo okutyuukirira okusinga ku biruubirirwa ate ebiruubirirwa biri kumpi nnyo okutuukirira okusinga ebigendererwa.

Ebisonjozo by’ebiruubirirwa eby’omulamwa

Okutuuka ku biruubirirwa byo olina okumanya obulungi ki ky’oyagala okufuna .Tosonjolanga biruubirirwa byo na bigambo ebitali birambulukufu bulungi nga okwengerako, okusingako, katono, kinene, kanene, kiwanvu, muwanvu , oba kitono. Beera mwesonjovu(specific) . Singa oba oyagala okukukendeeza omubiri , mu kifo ky’okugamba nti njagala kulongoosa ndabika yange , oba olina okukiraga nga okozesa ebigambo ebisonjovu nga okukola dduyiro n’okulya kimu buli lunaku okusobola okukendeeza kirogulaamu emu buli wiiki .

Kikulu nnyo okusonjola ebiruubirirwa byo bw’oba nga ddala oyagala okutuuka ku buwanguzi mu bulamu . Kalondomusengeke alaga nti abo abayiseemu mu bulamu be Bantu abasonjodde ebiruubirirwa byabwe er ne babigobererwa.

Ebigendererwa ebivaamu omugaso biba n’ebisonjozo(characteristics) omuli okuba ebyesonjovu (specific) ebipimifu(measurable) ebituukikako(attainable) , ebitegeerekeka(realistic) ate nga biri mu kiseera .Mu butuufu ebisonjozo by’ebiruubirirwa birimu :

• Obupimifu(Measurable):

Okusonjola obusonjozi ebiruubirirwa tekimala , olina okuteekawo amakubo gennyini okupima engeri engeri gy’obituukako . Jjukira enjogera nti “ekyo ekiba kipimiddwa kye kikoleka” .

• Ebituukikako:

Bw’osonjola ebiruubirirwa olina okulaga enneeyisa, obusobozi ,obumanyirivu n’ebiyingizo (inputs, funds) ze wetaaga okubituukako.

• Ebitegeerekeka .

Buli kiruubirirwa ky’osonjola kirina okwesigama ekiruubiriro ekiyinza okutuukirizibwa .Tokola biruubirirwa by’otayinza kutandikako era nga n’awe wennyini tokkiriza nti onoosobola okubituukiriza.

• Biriko ebiseera ebigere.

Walina okubaawo ebiseera ebigere okutuukirizaamu oba opkutuuka ku biruubirirwa byo. Bw’oba nga wetaddeko ebiseera ebigere , oba n’ekikubanja okubituukiriza n’okubituukako .