Jump to content

Ebiwangagano(Gears)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Gears animation

Gakuweebwa Charles Muwanga !!Ebiwangagano oba Ebiwango (gears) nakyo kika kya namuziga n'enjuziso. Ennyanguyirizi esookerwako eya namuziga n’ekikono (wheel and axle) esobozesa ekintu okuva mu kifo okuyita mu kwetoloola (rolling) olw’okukendeeza ekikuubagano.

Mu nnyanguyirizi eza namuziga n’ekikono mulimu motoka, eggaali, ekigaali, ebimotoka ebizannyisibwa abato, okunokoolayo ebimu.

Wombi mu nsuubo n’ekitendero ekyewunzifu, empalirizo yeyongera buli lw’okendeeza obuwanvu bw’olugendo. Mu namuziga n’ekikono era kino kye kimu; omugendo gwa namuziga guvaamu omugendo omumpi naye nga gwa maanyi ku kikono. Namuziga n’ekikono kitwalibwa nga ekisuubo ekyetoloovu (circular lever). Ebintu bingi bikolera ku namuziga n’ekikono, gamba nga ekisimiso eky’enjola (screw driver), ne siteeringi (steering wheel).


Eno eggaali (bicycle) nayo nnyanguyirizi ya namuziga n’ekikono Ekigaali (wheel barrow) nakyo namuziga ya kikono.


Omunyolo guno wansi bw’ogunyoola nagwo gukola nga namuziga n’ekikono. Ate ekkufulu eno ng’obadde otaddemu ekisumuluzo eba nnyanguyirizi ya kika ki?


Ebiwangagano n’Ebikoba (Gears and Belts)

Ensengekera ya namuziga n’ekikono efuuka ya mugaso nnyo singa bigattiddwa ku biwangagano n’ebikoba.

Ekifaananyi kino kiraga ekiwango ekinene n’ekiwango ekitono okuva ku maweto ag’enjawulo abiri. Okutegeera emngeri ebiwango gye bikolamu kyetaagisa ng’obandde oyiga ku nnyanguyirizi ezisookerwako.


Ebiwangagano bikozesebwa okukyusa obwolekero oba emisinde gy’omugendo kyokka okukyusa emisinde gy’ekyetoloola ekifuulannenge (changing the speed of rotation inversely) kirina kye kikola kumpalirizo eba eweerezebwa. Ekiwangano ekitono (small gear) nga kiwangiddwa n’ekiwangagano ekinene kiba kyetoloola okusingawo kyokka nga kikozesa empalirizo ntono. Waliwo ebiwanganano ebisookerwako birina amaanyo agewangagana.


Amannyo ga Namuziga ey’ebiwangagano emu gawangagana n’amannyo aga namuziga ez’ebiwanagagno endala. Namuziga ez’amannyo emu ereetera namuziga ez’ammannyo endala okuva mu kifo nga yetoloola.


Ebiwangagano bireetera ekidduka okwongeza oba okukendeeza omuliiro n’okwongeza empalirizo ey’okuweta. Ebiwangagano bisangibwa mu bidduka ng’emotoka, eggaali, n’ennyanguyirizi endala.