Ebizibu ebiva ku mwenge ebituuka ku mwana atannazaalibwa

Bisangiddwa ku Wikipedia


Enfaanana y’ekizibu kino[kyusa | edit source]

Kano[[1]] ke katu k’embeera ezituuka ku muntu nga maama we yanywanga omwenge mu kiseera we yabeerera olubuto. Ebizibu bino mulimu enfaanana etali ya bulijjo, okubeera omumpi, okuwewuka, okubeera n’akatwe akatono, ebitundu by’omubiri okulemererwa okukwatagana mu mpulira n’enkola yaabyo, okutegeera okutono, obuzibu mu kuwulira oba okulaba. Abantu ab’ekika kino babeera n’obuzibu mu kugondera amateeka, babasiba nnyo mu makomera era nga beenyigira nnyo mu bikolwa eby’obukaba, okukozesa ennyo omwenge n’ebiragala ebirala.

Ekireeta obuzibu buno[kyusa | edit source]

Obuzibu buno businziira ku bungi bw’omwenge omukyala gw’anywa ng’ali lubuto ebbanga mw’agunyweredde neddi lw’agunywedde. Mu nsonga endala mulimu; omukyala okuzaala ng’akuze, okunywa ssigala wamu ne maama okuba ng’alya bubi. Tewaliiwo kiseera kitali kya bulabe oba kikkirizibwa kunywerako mwenge ng’omukyala ali lubuto. Okunywako akatono ku mwenge kiyinza obutaleeta nfaanana ya mwana mbi wabula embeera y’enneeyisa ye ekosebwa. Omwenge guleetera omusaayi okusala okudda ku bwongo era nga kino kikosa enkula y’omwana. Okukeberebwa kusinziira ku bubonero.

Engeri y’okuziyiza obuzibu buno[kyusa | edit source]

Ebizibu bino bisobola okuziyizibwa ng’omukyala yeewala okunywa omwenge ng’ali lubuto nga n’olwensonga eno bannabyabulamu bakivumirira. Singa embeera eba nga yaalubeerera awo obujjanjabi obw’enjawulo busobola okukozesebwa okusobola okussaawo embeera y’okunyumya n’omwana ali mu lubuto okusobola okumuzimba entegeera n’enneeyisa.

Ebizibu bino biteeberezebwa okuba nga bikosa abantu 2% okutuuka ku 5% mu nsi eya Amerika ne mu bugwanjuba bwa Bulaaya, era nga kikkirizibwa nti bituukawo mu baana 0.2 ne 9 ku buli baana 1000 abazaalibwa mu Amerika ate mu South Afrika bali 9%. Obulabe bw’omwenge ku bulamu bw’omuntu buzzenga bunnyonnyolwa okuviira ddala mu biseera eby’emabega nga kyasooka kukolebwa mu mwaka gwa 1973