Jump to content

Ebyassava ne woyiro(Fats and Oils)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ebyassava ne Woyiro

      (Fats and Oils)


Emmere eza ssava (Ebyassava) ne woyiro zivaamu amaanyikasoboza mangi mu mubiri. Woyiro(oirs) gaba masavu ga kakulukusi(liquid) fats) .

Amasavu mu dayate nago getaagisa olw’obulamu obulungi kubanga gakola vitamiini ezimu ezeetagibwa mu mubiri , gabikkirira ku bitundu by’omubiri ebimu eby’enkizo , ge gamu ku bikola obutaffaali bw’omubiri, ate era gayamba okukuuma tempulikya y’omubiri.

Amasavu era galwiisawo omuntu okulumwa enjala olw’okuba nga mugattiko gw’emmere ogulimu amasavu gumala akaseera kawanvuko mu lubuto.Bannandiisa (nutritionists) baawula wakati dayati z’amasavu ez’enjawulo :

(a)Amasavu amabugaanu(agabugaana omubiri)

             (Saturated fats). 

Gano gaba ga ssolido (solid form) ate nga gasibuka mu kulya nnyama ya bisolo.Mu dayati nnyingi gava mu masavu ga nnyama. Amasavu agabugaana gayinza okulunnyisa obunji bwa kolesito(cholesterol) mu musaayi.Kolesito sabusitasi ey’oluzigozigo(waxy) ekolebwa omubiri okukozesebwa amazzi ag’enjawulo agakutulakutula emmere mu lubuto(digestive juices) n’emirimu emirala.

Kolesito abaamu mu mubiri awatali kufa ku ki ekiriiriddwa. Ssinga obutaffaali bw’omubiri buba tebukyasobola kuyingiza kolesito ono olw’okuba ayitiridde atandika okugumba ku bisenge by’emiyitiro gy’omusaayi kin one kiviirako okugifunza. Kino kiyinza okuleetawo endwadde z’omutima oba ekikutuko.

(b) amasavu agatabugaana(unsaturated fats). Gano gaba masavu ga bimera.

Bivudde mu kitabo Essomabiramu(Biology) , ekya Muwanga