Ebyenjigiriza mu Buganda ng'abafuzi b'amatwale tebannajja(the education system in Precolonial Buganda)
Mwami Charles Muwanga ku lupapula luno agenderedde okulaga nti bajjajjaffe abataayingirako mu mabanguliro na Ssettendekero za kuyiga kwa waggulu ng'eziriwo kati baali bayiiya nnyo era ne bateekawo ensengekera y'ebyenjigiriza(education system) eyalimu emitendera okutuukira ddala waggulu .
"Okubangula (Ebyenjigiriza) mu Buganda eyedda"
Enkola y’ebyenjigiriza kitundu ku Sebasitula oba sebuzimbe(superstructure) era efugwa "omusingi gw’ebyenfuna" (economic base) mu ntabaganya.
Mu “byenfuna ebya nnima ya kulya” mu Buganda ey’ebiseera ebyedda, abaana baafunanga okutendekebwa mu bintu ebyenjawulo ebyemirimu egyali gyetagibwa mu biseera ebyo okugatta ku masomo g’empisa mu mitendera gino.
(i) Okutendeka Okusooka.
Eno yeyalinga okusoma kwa “primary” okuliwo kati. Okusoma kuno kwalinga mu maka ng’essira baliteeka ku kuyigiriza baana obukugu mu mirimu egyenjawulo ng’omwana akola eno bwayiga (home apprenticeship) okutuuka bwabangulwa. Abalenzi bayigirizibwanga okubumba, okuluka eby’emikono, okuyigga, okusaanuusa ebyuuma, n’ebirala, ng’akola ne taata we n’abasajja abakulu abalala mu kitundu. Abawala nabo bayigirizibwanga emirimu egyekikyala nga bakola nebamaama baabwe oba n’abakyala abalala abakulu mu kitundu. Mukutendeka kuno mwalingamu n’emizannyo egy’enjawulo awamu n’okuyimba. Okuzina, n’okuba ebivuga ng’engoma n’endingidi.
Amasomo ag’omutwe (academic education) gasomesebwanga akawungeezi nga buzibye ng’abakulu basomesa abato engero, ebisoko, ebyafaayo by’ensi yaabwe, okuyimba, okubala, ebikwata ku kika n’enju mwebava: emizannyo, n’okutendekebwa mu by'entalo. Mumizannyo mwalingamu omweso, okuvuga aato n’emirala.
(ii) Okutendeka Okwomutendera Ogwokubiri. Eno yeyalinga okusoma kwa siniya.
Kuno kwalinga mu bisaakaate by’abaami ba Kabaka. Abaana abatwalidwa eno bayiganga okuweereza abagenyi okuteekateeka n’okukubiriza enkiiko, okuteesa n’okukubaganya ebirowoozo; okusala emisango, obukulembeze, okukunganya emisolo, n’ebirala.
(iii) Okutendeka Okwomutendera Ogwawaggulu.
okulinga okwa Settendekero eziriwo kati. Kino kwalinga mu lubiri lwa Kabaka. Abaami ba Kabaka baawerezanga abaana okuva mu bisaakaate byabwe abasukkulumye ku bannaabwe mukubanguka mu lubiri lwa Kabaka. Abo abakungukanga nga ebifo ebyamaanyi mu Gavumenti ya Kabaka. Okutendeka n’okubangula kwendaze waggulu kwayamba kinene okukulaakulanya Obusobozi (Production Forces) bwa Buganda obwebiseera ebye’dda omwalinga okutendeka abaana mu kulima, okuweesa, okukola ebyambalao, okulunda, okusuubulangana, okulwana entalo, n’ebirala.