Jump to content

Ebyetaago by'Obulamu eby'Omulengera (the Mental needs of Life)

Bisangiddwa ku Wikipedia

(Ebyetaago by’Obulamu eby’Omulengera

            (The mental needs of life) okusinziira ku Charles Muwanga

Kati nno bw’oba obadde weyita mutegeevu nnyo kubanga okulaakulanye mu bulamu obw’omwoyo n’obw’omubiri naye ate n’osuulirira okukulakulanya enkozesa y’omulengera (mental health) ogusibukamu obwakalimagezi, werimba. Okukulaakulanya enkozesa y’omulenmgera kuba kukulaakulanya bwakalimagezi.

Ye abaffe kiri kitya nga essira olitadde ku bulamu bwa mubiri na mulengera n’osuulirira obulamu obw’omwoyo oba nga essira olitadde ku bulamu bwa mwoyo na mulengera n’osuulirira obulamu obw’omubiri? Wonna kuba kukootakoota mu galumonde!

Omwoyo ogusibukamu obwa kalimagezi gwe guyitibwa “omulengera” (the mind), ky’ekifundikwa ky’ obwakalimagezi” (human Intelligence). Omulamwa (concept) gw’obwakalimagezi gukozesebwa okunnyonnyola obwoogi bw’obwongo (brain power) oba obwogi bw’omulengera (mental power) mu nsolo eyitibwa omuntu.

Obusobozi bw’o bwongo buno, obuyitibwa omulengera (the mind), busibukamu obwakalimagezi bw’enjawulo, omuli:

a) Obwakalimagezi mu kulaba ekibalo kya Katonda ekya waggulu mu kyewunyo ekyeyorekera mu bumu bw’obwengula n’obutonde bwonna obubulimu, obw’ebiramu n’ebitali biramu (divine intelligence).

b) Obwakalimagezi mu kibalangulo oba ekibalo (mathematical intelligence)

c) Obwakalimagezi mu Sayansi ne tekinologiya(Scientific intelligence) d) Obwakalimagezi mu Katemba/okuyimba.

e) Obwakalimagezi mu bukujjukujju n’obutabaganyi(Social intelligence)

f) Obwakalimagezi mu kutondeka ebirungi

g) Obwakalimagezi mu kumanya ebikolwa ebiyinza okujja omuntu oba abantu abalala mu mbeera (emotional intelligence).

h) Obwakalimagezi mu okutegeera okw’embagirawo (intuitive intelligence).

Okukulaakulanya obw’akalimagezi kitandikira ddala okuva nga omwana ya kazaaribwa, mu maka, okutuuka lw’ayingira amasomero n’amatendekero.

Obwakalimagezi buno businziira ku bwogi bw’omulengera. Omuntu gy’akoma okuba n’Ekipimo ky’Obwakalimagezi (EkkyO), abangereza kye bayita “Interligence Quotient” (IQ), ekiri waggulu, gy’akoma okuba n’obusobozi okukozesa omulengera gwe:


• Okwekebejja obutonde

• Okujjukira

• Okulowooza nga yefumiitiriza.

• Okwekenneenya nga yefumiitiriza. Okwefumiitiriza busobozi bwa mulengera.

• Okusegeera n’ategeera ekyo sensa ze ettaano kye zimukettedde.

• Okutuuka ku kumanya

• Okutondeka emiramwa gy’omulengera (abstraction of mental concepts).

• Okusengeka ebirowoozo (logic)