Jump to content

Ebyetaago by'Obulamu eby'Omwoyo (the Spritual needs of Life)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ebyetaago by’Obulamu eby’Omwoyo (the Spiritual needs of Life) okusinziira ku Charles Muwanga !!

Ebyetaago by’obulamu eby’omwoyo mwe musibuka obuntubulamu, ekimu ku bintu ebikola omuntu mugunjufu. Obuyivu n’obukenkufu byokka tebimala kukufuula mugunjufu omujjuvu kubanga bangi abayivu era abakenkufu naye nga bye bakola si bya buntubulamu. Obuntubulamu kirimu obusobozi bw’okumanya ebikolwa n’enneeyisa eziyinza okujja bantu banno mu mbeera z’obuntu n’obusobozi okufuga embeera zo ez’obuntu nga zikyankalanye.

Obuntubulamu n’olwekyo bulina akakwate n’ekitundu ky’obulamu eky’omwoyo. Waliwo obw’omwoyo bwa mirundi ebiri:

• Omwoyo wa Katonda.

• Omwoyo w’obuntu


(i) Omwoyo wa Katonda

                (the Divine Spirit ).

Omwoyo wa Katonda ke kakwate mu butonde bw’omuntu akali wakati w’omuntu n’ekyewuunyo ekiri mu bwengula n’obulamu ku nsi. Amazima, obwesigwa, okukkiriza, essuubi, n’okwagala biri wansi wa mwoyo wa Katonda (the spirit).

Okuyita mu mwoyo wa Katonda omuntu alaba ekyewuunyo ekiri mu butonde era mu kyewuunyo ky’obutonde mwalabira omukono gwa Katonda ogw’ekyewuunyo ogutalabika era n’amuyaayanira ng’amusinza, amugulumiza, n’okumutendereza, awamu n’okumanya amateeka ga Katonda kwe tulina okutambuliza obulamu.

Mu kuyaayanira Katonda, omuntu agenda mu maaso okunoonyereza ku butonde buno ng’ayita mu “nkola ya sayansi” (scientific method). Mu kyewuunyo omuntu ky’alaba mu butonde mwayita okukulaakulanya obwakalimagezi bwe n’enkola z’ omulengera (mental processes).

Omwoyo wa Katonda y’asobozesa omuntu okufuga embeera ze ez’obuntu embi (negative emotions) ze tugenda okulaba mu kitundu

(ii) ekinnyonnyola ku mwoyo w’obuntu.

(ii) Omwoyo w’obuntu

       (the human soul)

Omwoyo w’obuntu (the soul) y’asibukamu embeera z’obuntu (human emotions). Obwakalimagezi era kyekuusiza ku busobozi bwa kumanya bikolwa ebiyinza okujja abantu banno mu mbeera ate era n’obusobozi okufuga embeera zo ez’obuntu embi eziretebwawo omwoyo w’obuntu. Okukulaakulanya obwakalimagezi mu omwana kiyamba okuyigiriza omwana okufuga embeera ze ez’obuntu n’okwewala ebikolwa ebiyinza okujja Bantu banne mu mbeera.

Awo okiraba nti ebyetaago by’omuntu eby’omulengera (mental needs of life) byonna ate era byetaago bya mubiri na mwoyo. Omwana yetaaga endya ennungi, obujanjabi n’okuyigirizibwa amagezi ag’amasomero n’amatendekero kyokka ate singa ekitundu eky’omwoyo okisuulirira, okwo kwonna kuba kugoba mpewo.

Omwana aba omuntu mu buzaale bwe ayinza okuba nga ekipimo kye eky’obwaklimagezi kiri waggulu oba kiri wansi kyokka embeera ennungi oba emunyigiriza gy’alimu n’ekyusa EkkyO ye.

Omwana gy’akoma okusigala ku somero ng’ayiga oba atendekebwa gy’akoma okukulaakulanya EkkyO. Mu butuufu buli mwaka omwana gw’asigala ng’ayigirizibwa ku ssomero gy’akoma okukulaakulanya EkkyO ye okusinga nga abadde awanduse mu by’okuyiga nga bukyali.

Omuntu atagenze mu ssomero okumuwa ekikunizo ekyangu kyonna aba talina w’atandikira ku ky’anganga era kino kiraga nti EkkyO ye eri wansi ddala. Eky’okulabirako singa oweereddwa obukunizo nga buno wansi n’ogambibwa nti:

Sonjola(simplify ):

(i) 274/3

(ii) (2.6 × 105) (9.2 × 10–13)

(iii) (-4)(-8)(-2) = 2 oba -2

                     (-16)(2)

Omuntu atamanyi bigoberero na bisonjozo byetaagisa otandikira wa?

EkkyO y’abaana abali mu kibiina kye kimu eddirira okuva ku basembayo obuto okudda ku basingayo obukulu. Singa wekenneenya abaana abali wakati w’emyaka 10 – 12 ne 14-17 abali mu kibiina eky’omusanvu ojja kukizuula nti abasinga kw’abo abalina EkkyO eri waggulu be bali mu kibinja ky’emyaka 10-12 ate abasinga obungi kw’abo abali mu kibinja ky’emyaka egiri waggulu (14-17) be balina EkkyO eri wansi. Kino tekitegeeza kutandisa mwana kusoma nga muto nnyo ekiyitiridde. Ku myaka mukaaga omwana asaanye abe ng’ali mu kibiina ekisooka kyokka bazadde abamu olw’obutamanya balwisaawo abaana babwe okutandika ppaka nga balina emyaka mwenda.

Amasomero gaffe agamu gettanira nnyo okuzza abaana abakoze obubi mu bibiina naye oluusi kino tekirongoosa kuyiga kwabwe. Mu butuufu EkkyO ekosebwa singa omwana aba atandise okusoma ekikeerezi era buli mwaka omwana gw’amala nga tannaba kutandika kuyiga wabaawo okuddirira mu EkkyO ye. N’omwana oba omuntu okuva mu ssomero ate oluvannyuma n’addayo nakyo kikendeeza EkkyO ye. Eno y’ensonga lwaki abaana abagobwagobwa mu masomero olw’ebisale by’essomero n’abo abalwalalwala ne baba nga bamala ebiseera nga tebasoma ate nga bannaabwe bbo bagenda mu maaso nabo bafuna okuddirira mu EkkyO.