Ecobank Uganda
Ecobank Uganda bbanka mu Uganda ekola nga banka y’ebyobusuubuzi wansi wa layisinsi eyaweebwa Bank of Uganda, banka enkulu n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bbanka z’eggwanga. [1]
Ekifo mwesagibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ekitebe kya Ecobank Uganda kisangibwa ku Pulotit 8A, ku luguuddo lwa Kafu , mu Divizonni y'awakatti eyaKampala, ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu Uganda. [2] Ebikwatagana n'ekitebe kya bbanka eno biri 0°18'47.0"N, 32°35'06.0"E (Latitude:0.32662; Longitude:32.58310). [3]
Okulambika okutwaliza awamu
[kyusa | kolera mu edit source]Bbanka eno yatandika okukola mu Uganda nga 19 January 2009 nga bbanka ekola emirimu gyonna. Ewa gavumenti, ebitongole by’ebyensimbi, amakampuni g’amawanga amangi, ebibiina by’ensi yonna, bizinensi, n’abantu ssekinnoomu empeereza n’ebintu bya bbanka ez’okutunda ebintu mu bungi, eby’amaguzi, eby’okusiga ensimbi, n’eby’okutunda. [2]
We bwazibidde nga 31 December 2014, eby’obugagga bya bbanka eno byonna awamu byali obuwumbi bwa sente z'aYuganda:278.8, ng’emigabo gya bannannyini migabo gyali obuwumbi bwa sente za Uganda:46.9. [4]
Obwannannyini
[kyusa | kolera mu edit source]Ecobank Uganda kkampuni ya Ecobank Transnational, ekitongole kya bbanka ekitebe kyayo ekiri mu kibuga Lome ekya Togo . [5]
Olukiiko olufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Abantu bano abatuula ku lukiiko olufuzi olwa Ecobank (Uganda) okutuuka nga 30 November 2021: [4]
- Kin Kariisa, ssentebe
- Ehoumann Kasi, dayirekita atali mukulu
- Gertrude K. Lutaaya, dayirekita atali mukulu
- Grace Muliisa, Maneja Dayirekita
Akaiiko k'abakulu
[kyusa | kolera mu edit source]Grace Muliisa ye maneja wa Ecobank Uganda. Grace Muliisa, Maneja wa Ecobank Omuggya y’ani?
Omukutu gw’amatabi
[kyusa | kolera mu edit source]We bwazibidde mu December wa 2016, Ecobank Uganda yakuuma amatabi agalina emikutu mu bifo bino wammanga: [6]
- Ettabi ly'oluguudo lwe Bombo - Oluguudo lwe Bombo , Kampala
- Ekifo eky'okuweereza e Kireka
- EntebbeBranch - Ekibuga Entebbe
- Ettabi ly'e Lugogo - Forest Mall, 3A2 & 3A3 Oludda lw'emipiira, Lugogo, Kampala
- Ettabi lya ofiisi enkulu - siturwiiti ya Paalamentti, Kampala
- Ettabi ly'e Jinja - Jinja [7]
- Ettabi ly'e Kikuubo - Oluguudo lwa Nakivubo, Kampala
- Ettabi ly’e Mbarara, Siturwiiti enkulu Ekibuga Mbarara
- Ettabi ly'e Nakasero - Rwenzori Towers, Oluguudo lw'e Nakasero, Nakasero, Kampala
- Ettabi ly'e Ndeeba - Oluguudo lw'e Masaka, Ndeeba, Kampala
- Ettabi lya Oasis Mall - Oasis Mall, ku luguudo lwa Yusuf Lule, Kampala
- Ettabi ly'e Wandegeya - Bombo Road, Wandegeya, Kampala [8]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]
Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Bank of Uganda (30 June 2015).
- 1 2 Vision Reporter (8 October 2013). Cite error: Invalid
<ref>tag; name "About" defined multiple times with different content - ↑ https://www.google.com/maps/place/0%C2%B018'47.0%22N+32%C2%B035'06.0%22E/@0.3127173,32.5840673,197m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.31305!4d32.585
- 1 2 Ecobank Uganda Limited (28 April 2015). Cite error: Invalid
<ref>tag; name "Data" defined multiple times with different content - ↑ Wallace, Paul (20 April 2015). "Ecobank's Profit Climbs After Pan-African Lender Curbs Expenses". Bloomberg News. Retrieved 3 November 2016.
- ↑ http://ecobank.com/branches.aspx?btype=3&rt=0&cid=7408
- ↑ Mwesigwa, Alon (15 January 2014).
- ↑ Osere, Emojong (7 March 2010). "Bank of Uganda Urges Banks To Go Rural". New Vision. Archived from the original on 3 May 2014. Retrieved 3 May 2014.