Eddembe ly'okweyogerera
Ekiwandiiko kino okusingira ddala kyogera ku ddembe lya kweyogerera. Eddembe ly'okweyogerera lye liweebwa omuntu okusobola okwogera ebirowoozo bye, nga tatya kukugirwa/kuziyizibwa abo abali mu buyinza (gavumenti). Eddembe y’okweyogerera era lizingiramu n’eddembe ly’okunoonya, okufuna era n 'okusaasaanya obubaka oba endowooza yo nga tofuddeeyo ku mukutu mw’oyise. Eddembe ly'okweyogerera litwalibwa ng'eddembe ly'obuntu era waliwo n’amateeka g’ensi yonna agafuga eddembe lino. Okugeza Universal Declaration of Human Rights wamu ne International Human Rights Law. Eddembe ly'okweyogerera terituukiridde, era waliwo ebintu bingi ebirikugira, okuli; okuwaayiriza/okukonjera abakulu, okusaasaanya obuseegu okuyita mu bifaananyi mu ebiwandiiko oba mu butambi.
Entandikwa y'eddembe ly'okweyogerera
[kyusa | kolera mu edit source]Kirowoozebwa nti enfuga y'Abagereeki (Greeks) egoberera demokulaasiya ye yatandikawo eddembe lino eyo mu kyasa ekyokutaano oba ekyomukaaga nga Kristo tannajja. Ekirala bwe bukulembeze bw'eggwanga ly'Abalooma (Roman Republic) nabwo bwalimu eddembe ly'okweyogerera ssaako ery'eddiini. Okulangirira eddembe ly'omuntu ekyakolebwa eyo mu mwaka 1789 n'ebirala bingi biraga ensibuko y'eddembe lino. Ennaku zino eddembe ly'okweyogerera lissibwamu ekitiibwa mu nsi yonna nga beesigama ku nnambika ya John Milton agamba nti: Eddembe ly'okweyogerera si bbeetu lya kwanja bubaka na birowoozo kyokka, wabula kizingiramu n'ensonga enkulu endala ssatu: Okunoonya, okufuna n'okusaasaanya obubaka oba ebirowoozo eri abalala ng'omuntu takugiddwa. Kino kirimu n’omuntu okusalawo ku mukutu gw’ayagala okukozesa. Newankubadde eddembe ly'okweyogerera weeriri, naye ate tulina okulikozesa obulungi obutayingirira na kuvvoola ddembe ddala.
Eddembe ly'amawulire
[kyusa | kolera mu edit source]Lino ddembe eryongerezebwa ku ly'okweyogerera, naye ng'eyita ku mutimbagano gwa internet. Ate era kiyinza okutegeeza eddembe ly'omuntu yenna okukuuma ebyama bye obutalabibwa balala ng'akozesa omutimbagano. Okuggyawo eddembe ly'okukozesa omutimbagano nga kikolebwa abantu oba gavumenti Kino kizingiramu ebikolwa ng'okulondoola n'okuketta era n'okufugiriza ennyo abantu ku nkozesa ya internet. Wabula okuyita mu ddembe ly'amawulire eryo waggulu, ekitongole ekitaba amawanga agakozesa internet munsi yonna gakkaanya nti okuggyawo eddembe ly'okukozesa internet ng'oyita mu bikolwa ebyo waggulu kiba kikyamu era tekikkirizibwa. Buli muntu asaanye amanye eddembe lye era alikozesa bulungi.