Eddiini ya Buganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Okusinziira ku Muwanga Chales mu kitabo kye ,Bassekalowooleza ne Bannakalowooleza ba Buganda Abedda, Buganda eyedda yalina enzikiriza eya Katonda ow'obwa namunigina (monolithic God) ng'owabayudaaya oba abazungu . Katonda ono abaganda baali bamuyita amannya manji omuli:

- Namugereka -Kiwamirembe -Ddunda n'amalala

Abazungu we bajjira wano, mu BUganda mwonna mwalimu Amasobo ga Katonda asatu , gonna mu Kyaggwe, nga Essabo Lutikko lyali mu Ggulu e Mukono. Abanganda abedda oluvannyuma baatandika okusoosowaza Bassekalowooleza ne bannakalowooleza abaafa nga balowooza ntii kagezimunyu ne bwaba afudde asigaza obusoboze okukola eby'amagezi by'abadde akola mu biseera bye eby'obulamu.

Kino kye kyabaleetera okutandika okusooosowaza Bassekalowoolezabe bano baayitanga Balubaale nga Muwanga, Kiwanuka, Ggulu, Kayikuuzi,Mukasa era ne babazimbira masabo mu kifo ky'okusinza Katonda omutonzi w'eggulu n'Ensi.

Okuba ng'abaganda baali basinza Katonda y'ensonga lwaki bajjumbira eddiini empya ezisinza katonda ow'obwa namunigina okuva ebweru. Zaali tezikontana ne Katonda waabwe gwe Baali basinza.

Tuleme kusinza bafu wabula tubajjukirirekoera tubayigireko eby'amagezi bye baakola mu biseera byabwe eby'obulamu .Tusinza Katonda ow'obwa namunigina eyatonda obwengula bwonna na buli ekibulimu.