Jump to content

Eddwaaliro ly'e Nsambya

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox hospitalEddwaliro lya St. Francis Hospital Nsambya, erimanyiddwa ennyo nga Nsambya Hospital, ddwaliro mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era nga kye kibuga ekisinga obunene mu ggwanga eryo. [1]

Werisinganibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Eddwaliro ly’e Nsambya lisangibwa mu kiromita 2.7 okuva ku Disitulikiti y'e Kampala wakati omusinganibwa bizineensi ez'enjawulo,,ng'ovudde ku luguudo lw'e Ggaba ng'oyise ku luguudo lwa Hanlon ne Kevina ku lusozi Nsambya mu Divizoni y'e Makindye, ekimu ku bitundu ebitaano ebiddukanya ekibuga, wansi w’ekitongole kya Kampala Capital City Authority .

Ebyafaayo by’eddwaliro ly’e Nsambya erya St. Francis Hospital lyatandika ng’ekifo webatereka n'okuweera eddagala mu 1903 nga kino kyali kikolebwa Mother Mary Kevin Kearney, lyafuuka eddwaaliro mu 1906. Okumala emyaka amakumi abiri egyasooka lyali lyesigamye ku basawo abaali ab'ekiseera okutuusa mu 1922 lwe lyafuna Omutuuze eyasooka Dr. Evelyn Connolly nnakyewa omulayiki oluvannyuma ne yeegatta ku kibiina kya Franciscan Sisters wansi w’erinnya Sister Assumpta. Sr. Assumpta yafiira mu ddwaaliro e Nsambya mu 1974 era yakola kinene mu kutandikawo esomero eriyigiriza obuzaalisa mu ddwaaliro e Nsambya mu 1935 nga n'okutuusa mu 1963 nga bali wamu ne Mulago ne Mengo ge masomero gokka agaali gatendeka Abazaalisa abawandisiddwa okwetoloola eggwanga lyonna. Eddwaaliro ly’e Nsambya lye lyali ensibuko y’ekibiina kya Uganda Catholic Nurses Guild ekyatandikibwawo mu 1945.

Oluvanyuma lw’okutongoza akakiiko ka Royal Commission of Medical Services in Uganda (The Fraser Commission of 1954), eddwaliro ly’e Nsambya lyalangirirwa mu butongole Gavumenti ya Uganda omulundi ogwasooka era kino kyavaako omukago ogubaddewo n’okutuusa kati.

Sr. Assumpta yeegattibwaako Sister O’Sullivan, Sister Cotter omukugu mu w'omunda n'ebikwatagana ku by'eddagala mu 1967 ne Sister Duggan omukugu mu by’okuzaala n’okujjanjaba abakyala, buli omu n’afuuka akulira eby'eddagala mu ddwaaliro lino. Mu 1977 eddwaliro ly'e Nsambya lyakulembera ng’eddwaliro eritali lya Gavumenti eryasooka okutendeka abasawo ababangulwa ku by'eddagala, nga bali wamu n’eddwaliro ly’e Mulago, Jinja ne Mbale.

Olukiiko olufuzi olwasooka mu ddwaaliro lino lwalondebwa mu 1975 era mu 1981 lwakola ekiteeso eri Ssaabalabirizi Nsubuga nti eddwaaliro lino ligulweewo eri abakugu abalayiki enzaalwa oluvannyuma lw’okugoba kw'abagwiira ekyakolebwa Gavumenti ya Idi Amin. Mu 1992, Sisita Duggan omusawo wa Franciscan Missionary Sisters of Africa eyasembayo yakwasa enzirukanya y’Eddwaaliro eri Dr. Paul Kizza n’Omusawo w’okuzaala n’abakyala.

Mu kiseera kino, Eddwaliro lino lidukanyizibwa Olulabirira bw'e Kampala era nga likirizibwa ekitongole ky’abasawo abakatoliki ekya Uganda Catholic Medical Bureau. Likola ng’eddwaliro eddene ery'obwannanyini, nga teririna kigendererwa kya kukola magoba mu nkola y’eby'obulamu mu ggwanga ng'era liri ku mutendera gwa gw'Eddwaliro gyebakusindika ng'ewala bigaanye. Eddwaliro lino lirimu ebitanda 440. Obunene bw’okulabirira mu mulimu eby’obulamu bw’abantu, abalwadde abatagenda kusulayo n'abasulayo, obujjanjabi obw’amangu n’obw’abalwadde abayi obutuuka ku bantu nga 500,000 buli mwaka mu Divizoni y’e Makindye n’okusingawo.

Prof. Fred Ssengooba (Eddwaliro ly'e Nsambya)

Eddwaliro lino lirina akakwate kutendekero lya Nsambya Hospital Training School erisomesa abakozi b’eby'obulamu emisomo gya satifikeeti ne koosi za dipuloma mu bukodyo bwa bw'abazaalisa ne gyebatereka n'okugesesa eddagala. Eddwaliro ly’e Nsambya ky'ekifo ekitongole ewatendekebwa abamaliriza emisomo mu by'eddagala erya Uganda Martyrs University, wamu n'okubeera etendekero ly'abalongoosa mu Buvanjuba, Masekato ne mu Bukiikaddyo bwa Afrika (COSECSA) era eddwaliro erikirizibwa okutendekebwa.

Olukiiko olufuzi olw’eddwaliro luwa okwolesa kw'ebigendererwa n'Eddwaliro gyeriraga ku lw'abalina obuyinza mu bulabirira bw'e Kampala mu nkola y’Endagaano y’Eddwaliro. Olukiiko kyekibiina ekifuga Eddwaaliro era lulungamya ebigendererwa n’enkola ez’ekiseera ekiwanvu nga lukola enteekateeka n’okusalawo. Akakiiko kekalonda akulire eby'emirimu ne n'akulira eby'enzirukanya nga beebavunaanyizibwa ku kutuukiriza enteekateeka y’Eddwaaliro buli lunaku.

Dr. Andrew Ssekitooleko (Eddwaliro ly'e Nsambya)

Enkolagana ne Uganda Martyrs University

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Gwokuna 2010, Uganda Martyrs University (UMU), yakola endagaano n’Eddwaliro ly’e Nsambya okutandikawo esomero ly’obusawo erya diguli eyookubiri, nga lisinziira ku ddwaaliro lino. Esomero lino eriyitibwa Uganda Martyrs University School of Medicine (UMUSM), ligaba diguli eyookubiri mu by’obusawo ( MMed ) mu by’okulongoosa abantu bonna, Okuzaalisa n'okujjanjaba abakyala, mu By'eddagala ly'omuda n'okujjanjaba abaana n'eddwadde ezibatawaanya. Abayizi abaasooka okuwandiisibwa baaliwo ng'omwaka gwa 2010 gunatera okugwaako. [2] Professor Paul D'Arbela, yalondebwa okuweereza nga Omukenkufu mu b'Eddagala era eyali Akulira Abayizi ow'ekiseera owa Uganda Martyrs University Post Graduate Medical Education Program . Eddwaaliro lino lirina ewawumulibwa ekisirifu nga kirina akakwate ku The Quiet Garden Trust, ekikozesebwa ng’ekifo webawumulira, okwetegereza wamu n'abasawo, abazaalisa n'abalwadde webasabira. [3]

Ekifo webajjanjabira Kookolo

[kyusa | kolera mu edit source]

  Mu Gwomusanvu 2015, eddwaaliro lino lyagula ekitongole kya Rotary-Centenary Bank Cancer Center . Ekifo kino eky’ebitanda 36 kyazimbibwa ku kawumbi ka ssente za Uganda 1,500,000, nga gye 500,000 egya ddoola za ssente za Amerika nga kuliko n’obuyambi okuva mu bbaanka ya Centenary Bank ne Rotary Club of Kampala . [4]

 

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Uganda Ministry of Health (2020). "Profile of Nsambya Hospital" (PDF). Uganda Ministry of Health. Archived from the original (PDF) on 10 January 2020. Retrieved 4 November 2020.
  2. Al Mahdi Ssenkabirwa (5 April 2010). "Nkozi Links Up With Nsambya Hospital". Archived from the original on 27 September 2018. Retrieved 3 July 2014.
  3. Philip D. Roderick (13 August 2007). "I Am Here, Now" (PDF). Theway.org.uk. Retrieved 16 October 2012.
  4. Emmanuel Ainebyoona (8 July 2015). "Nsambya Hospital Gets Shs1.5 Billion Cancer Centre". Daily Monitor. Retrieved 8 July 2015.