Eddwaliro ly'e Mbarara
Eddwaliro lya Mbarara Regional Referral Hospital (MRRH), era erimanyiddwa nga Mbarara Hospital oba Mbarara University Teaching Hospital, kifo kyabyabulamu ekidukannyizibwa gavumenti nga kisinganibwa mu kibuga ky'e Mbarara, mu Bugwanjuba bwa Uganda. Kiweereza ng’ekifo gyebakusindika singa obulwadde bubeera bugaanye nadala eri abantu b'omubitundu bya Ankole, disitulikiti eziriraanyeewo n’amawanga agagyetoolodde, omuli Democratic Republic of Congo, Rwanda, Tanzania, ne Burundi. Eddwaaliro lino liwa obuweereza obw’enjawulo n’obw’enjawulo ennyo eri ekifo ekikuŋŋaanyizibwamu disitulikiti 12, omuli n’ekibuga Mbarara.
Wekisingaanibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Eddwaaliro lino liri mu kibuga ky'e Mbarara mu kitundu kya Ankole era lisangibwa mu kitundu kya bizineensi ez'enjawulo wakati mu kibuga . Ekifo kino kiri kiromita 139 (mayiro 86 ), ng'okozesa luguudo, mu bugwanjuba bwa bw'eddwaliro lya Masaka Regional Referral Hospital, mu kibuga Masaka . Kino kiri nga kiromita 268 (mayiro 167), ng'okozesa luguudo, mu bukiikaddyo bw’abugwanjuba bw'eddwaliro lya Mulago National Referral Hospital, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. [1] Enkwatagana y'ebitundu by'eddwaliro ly'e Mbarara biri 0°36'59.0"S, 30°39'32.0"E (Latitude:-0.616389; Longitude:30.658889). [2]
Entambuza y'emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Eddwaliro ly’e Mbarara ddwaliro lya gavumenti, eryatandikibwawo Minisitule y’Ebyobulamu mu Uganda, era obujjanjabi obw’enjawulo mu ddwaaliro lino bwa bwereere. Lirina akakwata kutendekero lya Mbarara University School of Medicine, esomero ly’obusawo erya Mbarara University of Science and Technology, era likola ng’eddwaliro erisomesa erya yunivasite eyo. Eddwaliro lino lirimu abayizi abasoma obusawo n’abatuuze. Eddwaliro lino era likola ng'eddwaliro erisomesa abayizi ba Abazaalisa okuva mu Bishop Stuart University .
Eddwaliro ly’e Mbarara lye limu ku Malwaliro 15 agatendeka abayizi abatikiddwa mu Uganda okuva mu masomero g’obusawo mu Uganda basobola okuweereza omwaka gumu nga balabirirwa abakugu n’abawi b’amagezi abalina ebisaanyizo. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (March 2016)">citation needed</span> ] Kirina ebitanda 600, wadde nga, nga bwe kiri ku malwaliro ga gavumenti amangi mu Uganda, abalwadde abalala bangi baweebwa ebitanda, ng’abasukkiridde beebaka wansi. Wabula waliwo ebbula ly’ebikozesebwa ebikola okugaba empeereza y’eby'obulamu mu matendekero aga waggulu. [3]
Okuddaabiriza
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Ogwoluberyeberye 2011, Pulezidenti Yoweri Museveni yasaawo ejjinja ly’omusingi ku ddwaaliro lino okulamba okuddaabiriza, okudaabulula, n’okugaziya eddwaaliro lino n’okulifuula eddwaliro ewasindikibwa abalwadde nga bigaanye ewalala mu ggwanga. Emirimu gino egy'okuzimba gyakoleddwa kampuni ya Excel Construction Company, edukannyizibwa aba Madhvani Group . Omulimu guno gwaali gusuubirwa okumala emyezi 18, ng'era kisuubirwa okugwa ku nkomerero ya 2011. [4] Obungi bw'ebitanda by’eddwaliro lino bwayongebwaako okuva ku 300 okutuuka ku 608. [5]
Mu Gwomukaaga 2024, okuzimba kwatandika ku kifo ekipya eky'ebitanda 100 ekyetongodde nga kyamyaliro enna,,eky’okulabirira abaana abato ababeera baakazaalibwa nga kyamalawo obukadde bwa ddoola za Amerika 1.9, nga bwawebwayo Bbaanka y’ensi yonna. [6]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Template:Google maps
- ↑ Template:Google maps
- ↑ Zick, Brittany (26 May 2015). "New Place, New Neurosurgery Needs: Neurosurgical Needs And Assets Assessment In Uganda". Globalhealth.duke.edu. Retrieved 4 July 2015.
- ↑ Fred Anyine (21 January 2010). "Mbarara Hospital To Be Upgraded To National Referral". Uganda Radio Network. Retrieved 4 July 2015.
- ↑ Yoweri Museveni (8 June 2011). "State of the Nation Address At the Opening of the 9th Parliament" (PDF). Uganda State House. Archived from the original (PDF) on 4 March 2016. Retrieved 4 July 2015.
- ↑ Alex Mugasha (11 June 2024). "Mbarara Hospital Breaks Ground For Construction of Shs7bn Neonatal ICU Complex". Nile Post. Retrieved 20 June 2024.