Eddwaliro lya Nyenga Mission
templatestylesTemplate:Infobox hospitalNyenga Mission Hospital, ng'erinnya lyayo mu butongole ye St. Francis Hospital Nyenga, kyokka nga esinga kumanyibwa nga Nyenga Hospital, ddwaaliro eritali lya magoba, ery'abantu bonna mu Uganda .likulirwa era ne liddukanyizibwa Obulabirizi bwa Roman Catholic e Lugazi. [1]
Ekifo
[kyusa | edit source]Eddwaliro lino lisangibwa Nyenga mu Disitulikiti y’e Buikwe mu Central Region ya Uganda . Kino kikunukiriza kilometres 15 (9 mi), ku luguudo, mu bugwanjuba bw’eddwaliro ly’e Jinja Regional Referral Hospital, mu kibuga kye e Jinja . [2]
Eddwaaliro lya Nyenga lisangibwa ku kilometres 90 (56 mi) mubuvanjuba bw’eddwaliro lya Mulago National Referral Hospital, mu kibuga Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. [3] Ensengeka z'ebitundu by'eddwaliro lya Nyenga ku maapu biri 0°23'02.0"N 33°09'08.0"E 0.383889, 33.152222 (Latitude:0.383894; Longitude:33.152220). [4]
Okulambika okutwaliza awamu
[kyusa | edit source]Eddwaliro lya St. Francis Hospital Nyenga ddwaliro lya bantu b'omukitundu ekyo nga riweereza Disitulikiti y'e Buikwe n'abantu okuva mu bitundu rbiriranyewo okuli Kayunga, Jinja, Buvuma, ne Mukono . Eddwaaliro lino lyatandikibwawo mu mwaka gwa1932 ng’eddwaliro erijjanjaba abalwadde b'ebigenge nga Maama Kevin ye [5]yalitandikawo, nga yali nnansi era omubiikira wa Franciscan Missionary Sisters for Africa. [6] Oluvannyuma eddwaaliro lino lyakwasibwa Obulabirizi bwa Roman Catholic e Lugazi, olwo ne litandika n'okujjanjaba endwadde endala. [7] Eddwaliro lino lye ddwaliro erisomesa essomero lya St. Francis Nyenga School of Nursing. Okusinziira ku alipoota eyafulumizibwa mu September wa 2010, eddwaaliro lino lyalina okusoomoozebwa kw’abakozi abatono n’okwonoona ebintu.
Emirimu gy’eddwaliro
[kyusa | edit source]We bwatukidde mu December wa 2019, eddwaliro lya Nyenga Mission Hospital lyajjanjaba abalwadde abaali bava ebweru ku kigero kya abantu 20,102 buli mwaka. Abalwadde abaweebwa ebitanda mu ddwaaliro baali 4,089, nga abasula ku kitanda baali 28 ku buli 100. Mu kiseera ekyo,ba maama abazaala baali 404 buli mwaka, nga omuwendo gw’abaana abazaalibwa nga balongoosa baali 37.7 ku buli 100. [8]
Laba nabina
[kyusa | edit source]Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1299900/us-injects-sh14b-catholic-church-hiv-aids-project
- ↑ https://www.google.com/maps/dir/St+Francis+Hospital+Nyenga,+Nyenga+Town+Council,+Nyenga+Parish,+Jinja%2FP.O.+Box+24,+Jinja/Jinja+Regional+Referral+Hospital,+Rotary+Rd,+Jinja/@0.4108626,33.137513,13z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177e79d925ec66df:0x6795527264ad2ffb!2m2!1d33.1400268!2d0.3793266!1m5!1m1!1s0x177e7b9ad9e6532b:0x168afcf76f804f0a!2m2!1d33.2053335!2d0.4301143!3e0
- ↑ https://www.google.com/maps/dir/St+Francis+Hospital+Nyenga,+Nyenga+Town+Council,+Nyenga+Parish,+Jinja%2FP.O.+Box+24,+Jinja/Mulago+Hospital,+Kampala/@0.3233583,32.5806709,10z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177e79d925ec66df:0x6795527264ad2ffb!2m2!1d33.1400268!2d0.3793266!1m5!1m1!1s0x177dbb0f51509de1:0xea12334542674d8c!2m2!1d32.5761312!2d0.3380637!3e0
- ↑ https://www.google.com/maps/place/0%C2%B023'02.0%22N+33%C2%B009'08.0%22E/@0.3838889,33.1522222,392m/data=!3m2!1e3!4b1!4m2!3m1!1s0x0:0x0
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1281756/nyenga-hospital-hit-water-shortage
- ↑ https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC4060234
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1170403/nyenga-hospital-staff-houses
- ↑ https://www.ucmb.co.ug/hospital/st-francis-hospital-nyenga/
Ebiyungo eby’ebweru
[kyusa | edit source]- Ensonga ezikwata ku kugenda mu kulabirirwa nga tebannazaala mu bakyala ab’embuto mu ddwaaliro lya St. Francis Hospital, Nyenga Subcounty, Buikwe District mu November 2014.
Authority controlTemplate:Buikwe DistrictBuikwe DistrictTemplate:Buikwe District