Jump to content

Edgar Luberenga

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Edgar Luberenga, yazaalibwa mu Gwokiuna nga 27, 1979 nga yali Munnayuganda omuwuzi, eyakuguka mu mpaka z'okuwuga emisinde wabyula ng'okoesa engeri ez'enjawulo.[1] Luberenga yayitamu okuzannya emisinde gy'abasajja egya mita 50 ng'owugira mu ngeri ez'enjawulo, ng'omuwuzi yeka mu Uganda, mu Mizannyo gy'Olympics Egy'omukyeya egya 2004 mu kibuga Athens. Yafunye ekifo ky'okubeera buli wamu mu FINA mu budde bw’okuyingira obwa saawa 27.30. [2] Yasoomooza abawuzi abalala musanvu mu ku mutendera gw'empaka za heat three, omwali Chris Hackel ow'emyaka 16 okuva e Mauritius. Yamalirizza e kisaawe n’akwata ekifo ekisembayo n'obutikitiki 0.06 emabega wa Hassan Mubah owa Maldives mu ddakiika 27.77 n’ebitundu mukaaga ku bikumi bya sikonda (0.06). Luberenga yalemererwa ookweyongerayo okugenda ku mutendera ogudirira ogw'akamalirizo, olw'okukwata ekifo kya 75 wona awamu kubawuzi 86 mu mpaka ez'okusunsulamu. [3][4]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Template:Cite sports-reference
  2. "Swimming – Men's 50m Freestyle Startlist (Heat 3)" (PDF). Athens 2004. Omega Timing. Retrieved 24 March 2013.
  3. "Men's 50m Freestyle Heat 3". Athens 2004. BBC Sport. 20 August 2004. Retrieved 31 January 2013.
  4. Thomas, Stephen (19 August 2004). "Men's 50 Freestyle Prelims Day 6: Hall Splashes a Hot 22.04, Fastest Qualifier; Lezak Makes This One but Popov, Hoogie Bow Out". Swimming World Magazine. Archived from the original on 29 October 2013. Retrieved 19 April 2013.