Edonga



Edonga Dance, era emanyiddwa nga Edonga, mazina ga kinnansi ag'obuwangwa mu bantu ba Karamaja, olubu lw'abantu aba Nilotic ababeera mu kitundu ky’Obukiikakkonobwobuvanjuba bwa Uganda naddala mu Disitulikiti y’e Kotido ne Moroto . [1] Amazina gano gabiibizibwa abasajja n'abakazi, nga gawerekerwako ennyimba ez'amaloboozi eziyimbibwa mu lulimi olukaramoja . Amazina ga Edonga galina amakulu ag'enkizo mu by'obuwangwa mu kitundu n'obusika bw'Abakaramaja . [2] [3]
Ebyafaayo
[kyusa | kolera mu edit source]Newankubadde ensibuko y'amazina ga Edonga tewandiikiddwa bulungi, gabadde gazinibwa abantu b’e Karamaja okumala ebyasa ebiwerako era kirowoozebwa nti yatandikibwawo ng’okwolesa okusiima n’okwagala eri eby’obuwangwa n’ennono mu lubu lw'abwe. Amazina gano ag’ennono g'etagisa abazinnyi okukongojja n'emibiri gyaabwe nga kabonero okolesa obwagazi bwabwe obutaliiko kkomo n’essanyu erirongoofu. [4]
Engeri gye gabiibizibwamu
[kyusa | kolera mu edit source]Amazina ga Edonga g'etabwamu ekibiina ky'abazinnyi abazina nga betoloola nga bwebayimba oluyimba olugoberera amazina. [5] Amazina gano gamanyiddwa olw’amaloboozi ag’ennyimba agatondebwa okuyita mu kukonkona ebigere n’okukuba mu ngalo, agakola ng’engeri ezisookerwako ez’okukuba ebivuga. Abazinyi bambala engoye ez’ekinnansi ez'aba Karamoja, nga muno mulimu emikuufu egy'embira egiwundiddwa obulungi, obukomo, n’embira z'okumagulu nga babuukira ddala waggulu n'emibiri gyaabwe okulaga obumalirivu, n'okwagala eri obuwangwa bwabwe n'Eggwanga ly'abwe. [6] [7]
Amakulu
[kyusa | kolera mu edit source]Amazina gano galina omugaso munene mu by’obuwangwa mu kitundu ky’e Karamoja, nga gatera okukolebwa ku mikolo egy’enjawulo ng’embaga, okuziika, n’emikolo emirala egy'obuvunanyizibwa. Amazina gano ag’ekinnansi galowoozebwa nti galeeta obugagga n’emikisa, galimu eby’obusika n’empisa ennungi ez’abantu b’e Karamoja. [8]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://kofitravelsafaris.com/ugandas-traditional-dances-celebrating-life-love-and-community/
- ↑ https://ugandasafariexperts.com/uganda-traditional-dances/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/travel/karimojong-remain-true-to-their-culture-4370952
- ↑ https://ugandasafariexperts.com/uganda-traditional-dances/
- ↑ https://www.tambulasafaris.com/cultural-immersion
- ↑ "Comboni". www.comboni.org. Archived from the original on 2023-02-06. Retrieved 2024-01-21.
- ↑ https://www.ongeriexpeditions.com/7-days-uganda-ultimate-adventure
- ↑ https://ugandasafariexperts.com/uganda-traditional-dances/