Jump to content

Edward James Wayland

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Edward James Wayland omuduumizi ow'okuntiko, yazaalibwa nga 23 Ogwoluberyeberye mu 1888,n'afa nga 11 Ogwomusanvu mu 1966 yali Mungereza eyakuguka mu by'emisomo gy'ebyafaayo by'ensi era omuwandiisi w’ebitabo. Yali mukulembezze eyasooka eyakulemberamu abaakola Okunoonyereza ku Nkula ya Uganda era omu ku baatandikawo ekibiina kya The Uganda Society mu 1923.[1][2]

Obuvu n'obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Wayland yazaalibwa mu kibuga London mu 1888 nga kitaawe yeeyali Edward Wayland ne Emily Street. Yasomera mu City of London College, Royal College of Science ne mu Royal School of Mines.[1][3] Era yasoma eky'okunoonyereza ku by'edda mu Yunivasite y'e Cambridge .[3][2]

Wayland yakola emirimu gy’okunoonyereza ku by'ekikula ky'ensi mu Misiri mu 1909 ne mu Portugal, Mu Buvanjuba bwa Afrika mu Mozambique mu 1911 ne Sri Lanka nga Sematalo Asooka tanabeerawo.[1][3]Okuva mu 1912, yakola ng'Omumyuuka W'akola ku By'okunoonyereza mu By'obugagga By'omutaka mu Ceylon. Mu biseera bya Sematalo Eyasooka, yaweereza mu Bufalansa okuva mu 1916 okutuuka mu 1919.[2]

Oluvannyuma lw’olutalo, yafuuka omukugu wa Gavumenti mu Uganda ku By'okunoonyereza ku by'ekikula ky'ensi, era gye yafunira obwagazi mu by’okunoonyereza ku bintu by'edda naddala ebyafaayo nga n'ebiwandiiko tebinabeerawo. Yeegatta ku baali Banoonyereza ku By'ekikula kya Uganda mu 1919 nebamufuuka eyali abakuklira mu 1920.[1][3] Yeenyigira mu kunoonya eby’obugagga eby’omu ttaka, okukola maapu y’ekikula ky'ebintu, n’okunoonyereza mu Uganda n’amawanga ag’omuliraano.[3][4] Yazuula ebifo ebiwerako ewali wasinganibwa ebintu by’edda n’ebyali bikozesebwa nga bikoleddwa mu mayinja mu Uganda, okwali Nsongezi era yali ku baali ku kibinja ekyasima ekifo ekimannyikiddwa nga Luzira Head. Era yawandiika ku nkolagana eyaliwo wakati w’ebiwoonvu emiga, enkuba, n’engeri abantu gyebazze bakyuka kyuka mu Afirika.[1][4]

Yasoma ebikwata ku by’edda mu Yunivasite y’e Cambridge okumala akaseera katono mu kiseera weyabeerera nga y'akulira Abaali Bakola Okunoonyereza ku By'ekikula kya Uganda.[1][3]

Ekyasigalira ky'eddwa kya Luzira head ey'ekyasa kya wakati wa 9 ne10 oluvannyuma lwa Yesu Okufa, nga kitundu ku bintu eby’eby’edda ebyasimibwa Edward James Wayland mu Uganda mu 1929.

Mu 1923, yali omu ku baatandikawo ekibiina ekyali kimannyikiddwa nga Uganda Society, ekibiina ky’eby'obuwangwa, ne sayaansi era n’afuuka omukulembezze waakyo mu okuva mu 1934 okutuusa 1935. Yaweereza mu magye ga Bungereza mu Sematalo Ow'okubiri era n’asindikibwa e Botswana mu 1943, gye yafuuka eyali akulira aba Bechuanaland Geological Survey abakola okunoonyereza ku By'ekikula ky'ensi. [3] Beebamu ku baasima era n'okuwandiika ku bifo ebyalimu eby'edda ebikwatagana ku bintu nga tebatandika kuwandiika oba ku biteeka mu butereke, n'ebyasigalira ku bimera oba ebisolo eby'edda mu Botswana, nga Tsodilo Hills ne Makapansgat. Mu 1939 okutuusa mu 45, yaddamu okuweereza mu lutalo, nga ne ku mulundi guno yakola emirimu gy’eby’okunoonyereza ku by'ekikula ky'ensi e Bechuanaland mu Botswana.[1]

Ebitiibwa n’omukululo

[kyusa | kolera mu edit source]

Wayland yaweebwa awaadi y'okubeera CBE Commander of the Order of the British Empire mu 1935 olw’obuweereza bwe mu by’okunoonyereza ku by'ekikula ky'ensi n'ebyasigalira eby'edda mu Uganda.[1][3]

Yawumula mu 1953 n’agenda e Ramsgate, Kent, gye yafiira nga 11 Ogwomusanvu mu 1966.[1][3] Yawaayo bingi byeyali yazuula ku byasigalira eby'eddwa nga kwekuli n'ebyeyafuna ku bulamu bw'ebimera n'ebisolo eby'edda eri eterekero ly'eby'edda e Bungereza n’amatendekero amalala.[3] Atwaalibwa ng’omu ku baatandikawo okunoonyereza ku by'edda nga tewanabeeraewo likodi oba biwandiiko mu Afirika nga tebinnabaawo era ng'omu kubawabuzi abangi eri abaasoma ennyo era abalina obuyigirize mu Afirika n’Abangereza.[1][3]

Wayland yawasa Ellen Morrison mu 1917. [1]

Ebiwandiiko byafulumiza

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Wayland yawandiika ku by'okunoonyereza ku by'ekikula ky'ensi ebisinga nga biri ku Afrika. Yawandiika ekiyitibwa “Stones of the Nawaratna: Their mythical significance and superstitious lore” ekyafulumizibwa mu katabo ka Journal of the Royal Asiatic Society of Great Britain ne Ireland. [1]
  • Mu 1925, ng'omunoonyereza wa Gavumenti ku By'ekikula ky'ensi, yawandiika obusobozi bwa Uganda mu by'amafuta mu byeyafulumya ebiyitibwa "Petroleum in Uganda". [5]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 "WAYLAND, Edward James – Persons of Indian Studies by Prof. Dr. Klaus Karttunen" (in American English). 2017-04-26. Retrieved 2024-01-29. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content
  2. 1 2 3 "S2A3 Biographical Database of Southern African Science". www.s2a3.org.za. Retrieved 2024-01-29. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":3" defined multiple times with different content
  3. 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 "Collections Online | British Museum". www.britishmuseum.org. Retrieved 2024-01-29. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":1" defined multiple times with different content
  4. 1 2 Wayland, E. J. (1921). "Some Account of the Geology of the Lake Albert Rift Valley". The Geographical Journal. 58 (5): 344–359. doi:10.2307/1780882. ISSN 0016-7398. JSTOR 1780882.
  5. Wayland, Edward James (1926). Petroleum in Uganda (in Lungereza). government printer, Uganda.