Edward Kiwanuka Ssekandi

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox officeholderEdward Kiwanuka Ssekandi yazaalibwa nga 19/ Ogwolubereberye 1942. Munnayuganda, munnabyabufuzi era munnamateeka abadde omumyuka wa Pulezidenti okuva nga 24/Ogwokutaano 2011 okuttuka nga 21/Ogwomukaaga/2021.[1] Nga tannatuuka kw'ekyo, yaweerezaako ng'omukubiriza wa Paalamenti okuva mu 2001 okutuuka mu 2011. Yaweerezaako ng'omubaka wa Paalamenti akiikirira essaza lya consituwensi Y'e Bukoto ey'a Masekkati okuva my 1996 okutuuka mu 2021.[2]

Obulamu n'emirimu[kyusa | edit source]

Ssekandi yazaalibwa mu disitulikiti y'e Masaka nga 19/ Ogwoluberynerye/1942. Yafuna diguli mu mateeka okuva ku ssettendekero ya University of East Africa . Era alina dipuloma ku teekesa mu nkola amateeka okuva ku Law Development Center mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene.[3]

Okuva mu 1973 okutuuka 1978, yaweezaako ng'omusomesa ku Uganda Law Development Centre. Okuva mu 1978 ne 1979, yakolako nga ssenkulu wa Law Development Centre. Ye munnamateeka eyakulemberamu akakiiko akaakola okubuuliriza ku kutyoboola eddembe ly'obuntu wakati wa 1986 ne 1993. Yali omu ku baabaga ssemateeka wa 1995 okuva mu 1995, okuva mu 1994 okutuuka 1995.

Mu 1996, Edward Ssekandi yalondebwa ng'omubaka wa Paalamenti okukiikirira essaza lya Bukoto ey'a masekkati mu lukiiko lw'eggwanga olukulu erisangibwa mu disitulikiti y'e Masaka. Yaddamu okulondebwa mu konsituwensi eyo mu 2001, 2006 ne 2011. Yaweerezaako ng'omumyuka w'omukubiriza wa Paalamenti okuva mu 1996 okutuuka mu 2001. Yalondebwa ng'omukubiriza wa Paalamenti mu2001, ekifo kye yalimu okutuuka mu 2011. Yasikirwa Rebecca Kadaga ng'omukubiriza wa Paalamenti, omukyala eyasooka okuba omukubiriza wa Paalamenti mu byafaayo bya Uganda nga, 19/Ogwokutaano/2011.[4]

Ebimukwatako ng'omuntu[kyusa | edit source]

Mufumbo, wa kibiina kya National Resistance Movement. Agambibwa okuba nga muwagizi nnyo ow'ebyemizannyo.[5]

Labe ne[kyusa | edit source]

  • Paalamenti ya Uganda
  • Olukalala lw'abakubiriza ba Paalamenti ya Uganda.

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. https://archive.is/20150208044004/http://www.independent.co.ug/component/wordpress/2011/05/former-speaker-sekandi-is-new-vp-and-mbabazi-prime-minister/?Itemid=422
  2. https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/elections/voters-speak-on-why-they-kicked-out-24-ministers-vp-3262462
  3. https://web.archive.org/web/20150924064454/http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?details=t&j=258&const=Bukoto+County+Central&dist_id=5&distname=Masaka
  4. https://web.archive.org/web/20141211080732/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/755206
  5. https://web.archive.org/web/20150924064454/http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?details=t&j=258&const=Bukoto+County+Central&dist_id=5&distname=Masaka