Egidio Nkaijanabwo
Egidio Nkaijanabwo (yazaalibwa 29 Omwezi ogwomunaana 1935), musaaserodooti mu ekereziya katulika era nga yaweereza ng'Omusumba w'essaza ly'obukatuliki ery'e Kasese, okuva nga 6 Omwezi ogwokusatu 1989 okutuuka nga 15 Omwezi ogwokuna 2014. [1]
Obuvo bwe n’obusaserdooti
[kyusa | kolera mu edit source]Nkaijanabwo yazaalibwa nga 29 Omwezi ogwomunaana mu 1935 e Rugazi, nga ye Disitulikiti y’e Rubirizi leero, mu ttundutundu ly'obugwanjuba bwa Uganda . Yatuuzibwa ku busaaserodooti nga 28 Omwezi gwokutaano 1961,ku Lutikko ya Liverpool Metropolitan, mu Liverpool , Bungereza. [2] Yaweereza nga omusaaserodooti okutuusa nga 6 Omwezi ogwokusatu 1989. [1]
Ng'omusumba
[kyusa | kolera mu edit source]Yalondebwa ku busumba bw'essaza ly'obukatuliki ery'e Kasesse nga 6 Omwezi ogwokusatu 1989 era n’atukuzibwa ng’omulabirizi e Kasese nga 17 Omwezi ogwomukaaga 1989 nga Kalidinaali Emmanuel Kiwanuka Nsubuga, Ssaabasumba ow'essaza ly'obukatuliki ekkulu ery'e Kampala , ng’ayambibwako Omusumba Serapio Bwemi Magambo † Omusumba i w’e Fort Portal era n 'Omusumba Yowaana Batisita Kakubi †, Omusumba w’e Mbarara. [1]
Nga 15 Omwezi ogwokuna 2014, Omusumba Nkaijanabwo yawummula ng'omusumba era awangaala ng'Omusumba w'e Kasese eyawummula, mu Uganda. [1]
Emmeeza y’obusika e Tororo
[kyusa | kolera mu edit source]Template:S-start Template:Succession box Template:S-endYasikira Omusumba w'e Kasese Yasikirwa
1989-2004 Francia
Aquirinus Kibira
Tewali (Okuva 2014
(ng'omwaka
1989
tegunatuuka)
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- David M. Cheney (26 May 2019). "Bishop Egidio Nkaijanabwo: Bishop Emeritus of Kasese, Uganda". Kansas City: Catholic-Hierarchy.org. Retrieved 27 July 2019.
- Gillian Nantume (23 November 2015). "A family of priests that found calling through inspiration". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 28 July 2019.
- 1 2 3 4 David M. Cheney (26 May 2019). "Bishop Egidio Nkaijanabwo: Bishop Emeritus of Kasese, Uganda". Kansas City: Catholic-Hierarchy.org. Retrieved 27 July 2019. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "1R" defined multiple times with different content - ↑ Gillian Nantume (23 November 2015). "A family of priests that found calling through inspiration". Retrieved 28 July 2019.
Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]