Jump to content

Ejjengerero (Plasma)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Blood plasma

Gakuweebwa Charles Muwanga !!!Ejjengerero (Plasma) eba ggaasi eyengeredde(glowing gas).

Ejjengerero liba nga ggaasi naye obuziba( atomu) bwaa njawulo kubanga bukolebwa obusannyalazo obutayaaya (free electrons) ne vatomu (ions) z'endagakintu.

Amayengerero (plasmas) tegatera kusangika nnyo ku Nsi. Kyetaagisa embeera ez’enjawulo okubezaawo ejjengerero. Yadde nga tomala gasanga mayengerero waliwo agamu g’olaba buli lunaku. Eky’okulabirako ye balibu y’ejjengerero (fluorescent light bulb).

Zino teziri nga balibu eza bulijjo. Munda mu tyubu mubaamu ggaasi. Amasannyalaze gakola nga amasoboza ag’enjawulo ne gayisa kyagi mu ggaasi, efulumya ekitangaala. Okukyaginga kuno n’okubuguumiriza atomu kutondekawo ejjengerero eryengerevu (glowing plasma) munda mwa balibu ‘kino nga ky’ekitangaala za balibu ez’ejjengerero.

Ekirara eky’okulabirako ky’ejjengerero bwe butaala bwa niyoni(neon lights). Okufaanana n’ekitangaala ky’ejjengerero, obutaala bwa niyoni buba bu tyubu bwa kirawuli obupikiddwamu ggaasi. Swiiki bw’etekebwako, amasannyalaze ne gayita mu tyubu ne gakyaginga ggaasi ya niyoni okutondekawo ejjengerero (plasma) munda mwa tyubu.

Ejjenngerero lyengerera okuvaamu kkala ey’enjawulo okusinziira ku kika kya ggaasi aba munda. Ate era olaba amayengerero nga otunuulidde emmunyenye (distant suns) mu bwengula. Emmunyenye (suns) ziba njuba ennene eza ggaasi nga ziri ku tempulikya eziri waggulu ennyo.


Tempulikya empitirivu ennyo waggulu zikyajinga atomu ne zikola ejjengerero. Emmunyenye mu bwengula zikulaga engeri tempulikya z’ejjengerero gye ziyinza okwawukana. Obutaala obw’ejjengerero (fluorescent lights) buba bunnyogoga nnyo nga obugeraageranyizza ne munyenye ezookya ennyo. Kyokka byombi bika bya mayengerero