Jump to content

Ekibalo ekigobensonga(Variation Math)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Kyandibadde kirungi osome ku miramwa gino ebiri:

(i) Ekibalo ekigoba ensonga(Variation Math)oba Ekibalangulo ekigobensonga(Variation mathematics)

(ii) Ekigobansonga

Singa oba ogoberedde bulungi engeri Charles Muwanga gy'annyonnyolamu emiramwa gino oba okiraba nti amakulu gaagyo ge gamu.

Ekigobansonga kibalo kya bintu oba embeera ezigoba ensonga. Okugoba ensonga kuba kunoonya kakwate wakati z’embeera emu n’embeera endala oba ekintu ekimu n’ekirala.

Mu Sayansi ez’entabaganyai(Social sciences) okufaanana ne Sayansi ez’obulamu(health sciences),buli kintu kirina akakwate n’ekirala. Mu ngeri y’emu,embeera emu eyinza okuba n’akakwate n’embeera endala, ekitegeeza nti ekibeera k mbeera emu kibaako kye kikola ku mbeera endala.

Kino kiyinza okutunuulirwa nga omukwataganyo(unction) nga embeera emu ekwatagana n’embeera endala , butereevu (directly) oba mu kifuunannenge(inversely). “Omugobansonga” (Dialectician) anoonya enjawulo eri wakati w’ebifaanagavu n’obumu bw’ebitali bifaanagavu. Bino biyinza okuba : • Ekigerageranyo ky’omusolo n’obungi bw’ebitundibwa (tax rate and amount of items sold)

• Emisinde n’ebiseera (Speed and time)

• Omuwendo gw’abakola n’obunene bw’omulimu gwe bakola mu kiseera ky’ekimu

• Obwetoloovu n’olusekkati(Circumfrence and diameter

• Ekigerageranyo ky’obungi bw’omukyere n’amazzi ageetaagisa oggujjisa . Kino kiba mu mugerageranyo(roati) kya 1:2 Weetegereze emiramwa gino egiri wansi w’essomo lino:

(i)Okugendana obutereevu (Direct proportionality). Its synonym is :

• Okukyukana obutereevu(Direct variation)

(ii) Okugendana ekifuulannenge (Inverse proportion). Its synonym is  :

• Okukyukana ekifuulannenge(Inverse variation)

Nga waliwo enkyusibwo(variables) bbiri x ne y, y eba egendana butereevu ne x singa wabaawo entakyuka(k) etali zziro . Okugendana obutereevu era tukiyita okukyukana obutereevu(direct variation).

Ebigambululo ebigobansonga(Variation statements):

(i) Ebigambululo ebiraga okukyukana obutereevu(Direct variation statements)

(a)Singa ekintu kiba kitambulira ku misinde egy,entakyuka(constant speed), kitegeeza nti obuwanvu bw’olugendo oluba lutambuliddwa lugendana butereevu(is directly proportional) n’ebiseera bye kimala mu kkubo , ng’emisinde , y’entakyuka ey’omugerageranyo era eyitibwa entakyuka ey’omugendaganyo(constant of proportionality).

(b) Obwetoloovu(circumference) bw’enkula ennetoloovu (entoloovu) bugendana butereevu n’olusekkati (diameter) lwayo , nga paayi(pi) y’entakyuka ey’omugendaganyo(constant of proportion ).

© Ku maapu ekubiddwa  kipimiro(scale), obuwanvu wakati w’obutonnyeze obubiri bwonna ku maapu bugendana butereevu n’obuwanvu wakati  w’obusangiro obubiri obutonnyeze obubiri  bwe bukiikirira , nga entakyuka y’omugerageranyo ky’ekipimiro ekya maapu.

(d) Empalirizo eteekebwa ku kintu olw’essikirizo (gravity) eba egendana butereevu n’enzitoya(mass) y’ekintu ekyo; entakyuka ey’omugendagano wakati w’enzitoya n’empalirizo eyitibwa “ekitebenteso eky’essikirizo(gravitational acceleration).

(ii) Ebigambululo ebyakifuulannenge(inverse proportions) . “Okukyukana ekifuulannenge”(Inverse proportionality).Enkyusibwo bbiri (two variables) ziba zigendana kifuulannenge(are inversely proportional) oba zikyukana kifuulannenge singa buli nkyusibwo eba egendana butereevu n’ensulike y’ekirala.

Wamo enkyusibwo y eba egendana kifuulannenge n’enkyusibwo x singa wabaawo entakyuka etali zeero. Ekyokulabirako:

(a) Obuwanvu bw’olugendo bigendana kifuulannenge n’emisinde

(b) Ebiseera ebyetaagisa okukola omulimu bigendana kifuulannenge n’omuwendo gw’abakozi .

Mu kibalangulo , singa “y = 7x” ,kitegeeza nti buli “x” lw’ekyuka ne “y” eba ekyuka.