Ekibiina Ekifuga Omuzannyo Gw'ebikonde mu Uganda






Ekibiina ekidukanya omuzannyo wg'ebikonde mu Uganda ekya Uganda Boxing Federation oba UBF mu bumpi mpi, ky'ekibiina ekirina obuyinza bw'okutegeka, okutumbuula n’okulaakulanya omuzannyo gw’ebikonde mu Uganda nga bwe kirambikibwa mu Teeka ly’Ebyemizannyo erya 1964 n’amateeka n’ebiragiro ebirala ebiddirira ebikwata ku mizannyo mu Uganda. [1] Ekibiina kino kyatandikibwaawo mu 1950, ng'era kirina akakwate ku kibiina ky'ensi yonna eky'ebikonde ekimannyikiddwa nga International Boxing Association. [2][3][4][5] Kirabirirwa olukiiko oludukanya eby'emizannyo mu Uganda olumannyikiddwa nga National Council of Sports oba kiyite NCS mu bumpi bimpi. [6]
Empaka ezitegekebwa ekibiina kya UBF ze zino okuli; EThe National Open Boxing Championship nga zino zetabwaamu buli omu, Novice Boxing Championship ezetabibwaamu abatalina bumannyirivu mu muzannyo guno era nga bapya, Intermediate Boxing Championship ezetabibwaamu bakyakayiga, Junior Boxing Championship nga zeetabibwaamu bamusaayi muto ne schools Boxing Championship nga zino zibeera wakati w'abayizi b'amasomero ag'enjawulo. [7]
Wekisinganibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ekitebe ekikulu eky'ekibiina ekifuga Omuzannyo Gw'ebikonde mu Uganda kisinganibwa ku Poloti namba 2-10 Coronation Avenue, Lugogo Sports Complex mu Disitulikiti y'e Kampala . [2]
Bekikola nabo
[kyusa | kolera mu edit source]Omuzannyo Gw'ebikonde mu Uganda guli akakwate ku lukiiko oludukanya eby'Emizannyo mu Uganda olumannyikiddwa nga National Council of Sports oba NCS mu bumpi mpi, ekibiina ekivunaanyizibwa ku mizannyo gy'Olympics mu Uganda, ekibiina ekitwaala ebibiina ebivunaanyizibwa ku Muzannyo Gw'ebikonde kulukalo kwa Afrika n’ekibiina ekigatta abazannyi b’ebikonde mu nsi yonna. [8] Ekibiina kirina kiraabu 47 zekidukanya, kiraabu 10 ez'ekiseera wabula nga zisuubirwa okukyusibwa esaawa yonna ne kiraabu z'ebikonde ezisoba mu 300 ezitanaba kwewandiisa. [9] [10] [11] [12]
Byekikola
[kyusa | kolera mu edit source]- Kikakasa ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde eyeetaba mu mpaka z’ebikonde ez’enjawulo. [13]
Bekizze kikolagana nabo
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2022, ttiimu ya Uganda ey'ebikonde, emannyikiddwa nga "the Bombers," yavuganya mu mizannyo gya egy'etabwaamu Amawanga agali mu luse olumu n'Eggwanga lya Bungereza , egyaali mu Bungereza.[14] [15]
Probellum, kampuni y’ebikonde mu nsi yonna mu 2021, yakola omukago n’ekibiina ekifuga ebikonde mu Uganda okulaakulanya abalwanyi bakyakayiga abalina ebitone mu Uganda n’okubawa omukutu okulaga obusobozi bwabwe ku mutendera gw’ensi yonna. [16] [17]
Mu Gwekumineebiri mu 2021, UBF yakolagana ne kampuni y'amawulire emannyikiddwa nga Next Media Services okuweereza obutereevu ku mukutu gwa ttivvi ya NBS Television empaka za liigi ya Uganda ez'Ebikonde ezeetabibwaamu Banantamegwa. [18]
Mu Gwomukaaga 2022, kampuni ekola eby'okunywa eya Crown Beverages Limited, wansi w'eky'okunywa ekiwa amaanyi ekiyitibwa Sting, yakolagana n'ekibiina ekifuga omuzannyo gw'ebikonde mu Uganda n'obuvugirizi bw'ensimbi bwa doola zaa Amerika 75000. [19] [20]
Abakulembezze
[kyusa | kolera mu edit source]- Moses Muhangi, Okuva Ogwoluberyeberye 2018 okutuusa kati (Nga 2024). [21] [22]
Omumyuuka w'omukulembezze
[kyusa | kolera mu edit source]- Sula Kamoga, 2024. [23]
Empaka ezitegekeddwa ekibiina ekidukannya omuzannyo gw'ebikonde mu Uganda
[kyusa | kolera mu edit source]- Empaka z'Ebikonde mu Ggwanga ezetabibwaamu buli omu. [23]
Obukuubagano
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 2 Ogwekumineebiri mu 2022, Pulezidenti w’ekibiina ekifuga omuzannyo gw'ebikonde mu nsi yonna, Umar Nazarovich Kremlev, yakyala mu Uganda okumala olunaku lumu, gye yatongoza okuzimba etendekero ly’ebikonde.
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "National Council of Sports Act 1964 | Uganda Legal Information Institute". Archived from the original on 2022-12-07. Retrieved 2025-10-11.
- 1 2 "Uganda Boxing Federation (UBF) | National Council of Sports".
- ↑ "Dis/Advantage Champions League: UBF Launches one of its kind Boxing Champions League but with Issues". November 25, 2021.
- ↑ "Over 180 boxers will take part in this year's inaugural Uganda Boxing Champions League".
- ↑ "Sting boosts Uganda Boxing Champions League with Shs285m". Monitor. July 1, 2022.
- ↑ "UBF || Official Website". www.ugandaboxingfederation.org. Retrieved 2024-05-29.
- ↑ "UBF's Muhangi hails Champions League for transforming boxing". New Vision. 23 May 2024.
- ↑ Kawalya, Brian (November 25, 2021). "Boxing Champions League Launched - All You Need To Know".
- ↑ "Sparks Boxing Club wins 2022 National Novice Boxing Championship". 29 November 2022.
- ↑ "COBAP lifts novices title".
- ↑ "Sparks Boxing Academy: Emerging from the Luzira Ruins". 27 September 2021.
- ↑ "KBC: Will Kampala Boxing Club Ever Regain its Glory? :: Uganda Radionetwork".
- ↑ "Ssemuddu to lead Uganda's boxing team to All-Africa Games". New Vision (in Lungereza). 7 March 2024. Retrieved 2024-05-29.
- ↑ "Uganda's Joshua Tukamuhebwa is the first surprise winner at the Commonwealth Games". July 29, 2022.
- ↑ Isabirye, David (June 29, 2022). "Uganda Boxing Team ups preparations for 2022 Commonwealth Games". Kawowo Sports.
- ↑ "PROBELLUM JOINS FORCES WITH UGANDA BOXING FEDERATION TO DEVELOP STARS OF THE FUTURE". November 30, 2021. Archived from the original on January 29, 2023. Retrieved October 11, 2025.
- ↑ "Probellum enters partnership with partnership with Uganda Boxing Federation - BoxingTalk". www.boxingtalk.com.
- ↑ "UBF launches Boxing Champions League". New Vision. 25 November 2021.
- ↑ Isabirye, David (June 29, 2022). "Boxing: Uganda Champions League attains Sting boost". Kawowo Sports.
- ↑ "Uganda Boxing Champions league attracts USD75,000 partnership". June 29, 2022. Archived from the original on December 1, 2023. Retrieved October 11, 2025.
- ↑ Isabirye, David (January 30, 2018). "New Uganda Boxing Federation executive vows to uplift standards, preaches unity". Kawowo Sports.
- ↑ "Uganda Boxing Federation to Elect New Leadership :: Uganda Radionetwork".
- 1 2 Apio, Nicole (2024-04-22). "National Boxing Open Championship Kicks Off". NBS Sport (in American English). Retrieved 2024-05-29.
Ewalala w'oyinza okubigya
[kyusa | kolera mu edit source]- Omukutu Omutongole
- Ekibiina ekifuga omuzannyo gw'ebikonde mu Uganda (UBF) | Olukiiko Oluvunaanyizibwa ku by'emizannyo mu mu ggwanga
- Okudda kw'ebikonde, UBF Eyanjudde Empaka empya ezituumiddwa Champions League | Eddoboozi lya Bugerere
- Emizannyo Egyetabibwaamu amawanga agali mu luse olumu ne Bungereza: Uganda egenda kusindika abakubi b’ebikonde 6 mu mizannyo gy'e Birmingham
- Omukulembezze W'ekibiina ekidukanya Omuzannyo gw'ebikonde mu Uganda Muhangi awangudde ekisanja eky'okubiri nga tavuganyiziddwa
- Sting ayongedde amaanyi mu Liigi ya Uganda ey'ebikonde eyeetabibwaamu banantamegwa n'obukadde 285
- Omukulembezze w'ekibiina ekidukanya omuzannyo gw'ebikonde Muhangi Ayogedde ebintu Ebisatu By'agenda okutekako esira