Jump to content

Ekibiina ekigatta omupiira gwa handball mu nsi yonna

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ekibiina ekigatta omupiira gwa handball mu nsi yonna
International sport governing body, handball federation Kyusa Wikidata
Inception11 Gwamusanvu(Kasambula) 1946 Kyusa Wikidata
Omuzannyohandball Kyusa Wikidata
EgwangaSwitzerland Kyusa Wikidata
Mmemba waAssociation of Summer Olympic International Federations Kyusa Wikidata
Head­quar­ters locationBasel Kyusa Wikidata
ReplacesInternational Amateur Handball Federation Kyusa Wikidata
Official websitewww.ihf.info Kyusa Wikidata
Operating areaworldwide Kyusa Wikidata
Related Wikidata propertyInternational Handball Federation player ID (archived) Kyusa Wikidata

Ekibiina ekigatta omupiira gwa handball mu nsi yonna ekya IHF kye kitongole ekiddukanya nekifuga omupiira gwa handball ne handball ezannyibwa ku lubalama ly'enyanja. IHF evunaanyizibwa ku kutegeka empaka z’ensi yonna ennene ez’omupiira gw’a handball, naddala IHF World Men’s Handball Championship, ezaatandika mu 1938, ne IHF World Women’s Handball Championship, ezaatandika mu 1957.[citation needed]

IHF yatandikibwawo mu 1946 okulabirira empaka z’ensi yonna. Ekitebe kyayo ekikulu kili mu kibuga Basel, kati obwammemba bwayo bulimu ebibiina by'amawanga 209. Buli nsi erina okuba mmemba w’ekimu ku bibiina omukaaga ebifuga omuzannyo gwa handball mu bitundu by’ensi eby’enjawulo: Afrika, Asia, Bulaaya, North America ne Caribbean, Oceania, ne South ne Central America . Hassan Moustafa okuva e Misiri abadde Pulezidenti wa IHF okuva nga 26 November 2000.[citation needed]

Ekibiina ekyasooka wo nga IHF tennatandikibwawo, International Amateur Handball Federation (IAHF) kyatandikibwawo mu kibuga, Amsterdam mu mizannyo gya Olympics egya 1928, naye kyasatululwa oluvannyuma lwa Ssematalo II.[1]

Okuva nga 10 okutuuka nga 13 Julaayi 1946, olukiiko olwatandikawo IHF lwatuula mu Palace Hotel mu Copenhagen, Denmark. Olukiiko luno lwetabwamu ababaka 35 abaali bakiikirira ebibiina by’amawanga munaana oluvannyuma lw’ekiteenso eky'awamu n’okuyitibwa okwava mu Denmark ne Sweden, nga bammemba abaatandikawo wamu n’amalala mukaaga; Finland, Bufalansa, Norway, Budaaki, Poland ne Switzerland.[2]

Nga 12 Julaayi 1946 IHF yakakasibwa mu butongole mu lukiiko lwa IHF Founding Congress, nga pulezidenti wa IHF eyasooka yali Gösta Björk okuva e Sweden.[1] Björk yasikizibwa mu 1950 Hans Baumann okuva e Switzerland. Mu 1954, empaka z’ensi yonna ez’abasajja eza IHF ezaasooka, zategekebwa wansi w’obukulembeze bwa IHF, mu Sweden nga zeetabwamu ttiimu z’amawanga mukaaga.[1] Mu 1957, empaka z’ensi yonna ez’omupiira gw’a handball eza IHF ezaasooka zategekebwa mu SFR Yugoslavia nga zeetabwamu ttiimu z’amawanga mwenda.[1] Omupiira gw’handball gwayingizibwa mu mizannyo gya Olympics omulundi ogwasooka wansi w’obulabilizi bwa IHF mu Munich 1972 (empaka z’abasajja) ne Montreal 1976 (empaka z’abakazi).

Amateeka n’enfuga

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekitebe ekikulu ekya IHF kiri mu kibuga Basel, era ekibiina kino kyatandikibwawo wansi w’amateeka ga Switzerland. Ekitongole kya IHF eky’oku ntikko ye IHF Congress, olukiiko olulimu ababaka abakikila buli kibiina kya bammemba ekikyegattako. Buli kibiina ky’eggwanga ekya handball kirina akalulu kamu, awatali kufaayo ku bunene bwakyo oba amaanyi gwakyo mu handball. Congress ekungana mu lutuula olwa bulijjo omulundi gumu mu myaka ebiri (emyaka egy’enjawulo) oluvannyuma lw’empaka za IHF World Men’s Handball Championship . Congress y’esalawo ebikwata ku mateeka ga IHF agafuga n’engeri gye galina okuteekebwa mu nkola n’okukozesebwa..Congress yokka y’esobola okuyisa enkyukakyuka mu mateeka ga IHF. Congress y’eyisa alipoota y’omwaka, era n’esalawo ku kukkiriza ebibiina by’amawanga ebipya n’okutegeka okulonda. Congress elonda Pulezidenti wa IHF, Omuwandiisi waayo Omukulu, n’ababaka abalala ab’akakiiko ka IHF . Akakiiko ka IHF akakubirizibwa Pulezidenti, ke kasalawo mu kibiina kino mu biseera by’olukiiko lwa Congress. Akakiiko kano kalimu abantu 18: Pulezidenti, Abamyuka ba Pulezidenti 5, n’abakiise 12. Akakiiko kano kekasalawo eggwanga eligenda okutegeka empaka z’ensi yonna. Pulezidenti n’omuwandiisi omukulu be bakulu mu ofiisi za IHF, era be bavunaanyizibwa ku nzirukanya yaayo eya buli lunaku, ekolebwa Obwassaabawandiisi. Hassan Moustafa ye pulezidenti aliwo kati, yalondebwa mu mwaka gwa 2000 mu lukiiko lwa IHF olwa bulijjo olwa 28.[citation needed]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 "IHF | the International Handball Federation – Timeline of Milestones".
  2. ↑ "Handball sport history?". Sports Comet. Archived from the original on 30 May 2009. Retrieved 11 February 2020.