Jump to content

Ekigaaniro (Inertia)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Moment of inertia

Gakuweebwa Charles Muwanga !! Ekigambiro (Inertia)

Ekigaaniro (Inertia) kinnyonnyozo kya buli kintu. Ekigaaniro kifundiwazo kya kigambululo “ekigaanira mu mbeera ey'embiro” (an experience of resistance to change when running).

Enkyukakyuka mu mugendo (okuva) teggirawo olw’okutolontoka okubaawo. Okukendeeza ebiro, okwongeza embiro n’okukyusa obwolekero zonna kyukakyuka mu kuva oba mu mugendo gw’ekintu oba omuntu.


Engeri yokka ey’okukyusa omugendo gw’ekintu kwe kuteeka empalirizo (to apply a force) ku kintu ekyo. Bw’osimula omupiira mu kisaawe ekiguleetera okuyimirira kiba mpalirizo za kikuubagano (frictional forces) eziba ziketeekeddwako.

Ekigaaniro kiba kya mbiro, kino nga kiba kigendana n’enzitoya (proportional to mass), ekitegeeza nti ekintu ekizitowavu (massive) okusingawo kiba kizibuwavu okuseetula oba okuyimiriza okusinga ekiwewufu, yadde ne kusafeesi etalina kikuubagano.