Jump to content

Ekigerageranyo (Rate)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Gakuweebwa Muwanga !! Ekigerageranyo (Rate)

Omulamwa gw “ekigerageranyo” guggwayo “ekibalo ekigerageranya namunigina bbiri ez’enjawulo”. Kino mu bufunze kye kiba “ekigerageranyo”.

Omulamwa gw’ekigerageranyo gwawule ku mulamwa gwa "ekigeranyo" (quostient). Bwe twogera ku “Ekigeranyo ky’Obwakalimagezi” era “Ekikyitibwa Ekigeranyo ky’Obugezi” oba “Ekipimo ky’Obwakalimagezi” (EkkyO) tuba twogera ku “Intelligence Quostient” (IQ).


Ekigerageranyo guba mugerageranyo ogugerageranya ebika bya namba bibiri ebirina namunigina ez’enjawulo nga “kiromiita buli ssaawa” oba “siringi 6,000 buli kiro”.


“Ekigerageranyo ekya namunigina” (unit rate) kigerageranya obungi (quantity) ku bulinamunigina y’ekipimo (= per unit of measure).

Namunigina y’ebisale (= unit price) kiba kigerageranyo ekigerageranya ebisale by’ekyettunzi ne namunigina y’ekipimo(unit of measure) ey’ekyettunzi kino.


Ekigerageranyo kya kiromiita oba mailo buli ssaawa kiwa obuwanvo (=obuwanvu bw’olugendo) obutambuddwa buli namunigina ya kiseera (per unit of time). Ebikunizo ebikozesa ekika ky’ekigerageranyo nga kino, biyinza okubazibwa okuyita mu kweyambisa omugendaganyo (proportion), oba ekibalanguzo(formula).

Ekikunizo: Nga bagenda e Mumbasa okuwummulako mu motoka, Kavuma ne Mukyala we batambula kiromiita 700 ku kiromiita 70 buli ssaawa. Olugendo lwabatwalira kiseera ki.? Ekigerageranyo (rate) kika kya mugerageranyo eky’omugaso ennyo ekikozesebwa mu bikunizo ebya bulijjo bingi ddala nga okugula ebintu mu maduuka n’obutale, okutambula, n’okumira eddagala. Mu butuufu buli kikolebwa kibaamu ekyefaananyirizibwako ekigerageranyo. Buli lw’oyogera ku mailo buli ssaawa oba fuuti buli sikonda oba kiromiita buli dakiika oba sente buli kipimo oba oli ku mulamwa gwa kigerageranyo (=ekibalo ekigerageranya namunigina bbiri ez’enjawulo).


N’okukuba kw’omutima gw’omuntu buli dakiika kiyitibwa kigerageranyo kya mutima ("heart rate). Bw’obuuza omunoonyi w’omulimu ogw’okukuba amatafaali nti “ekigerageranyo kyo kiri kitya ", oba obuuza sente meka buli kiseera ekigere z’ayagala okusasulwa

Akagambo "buli" (per) ke kakulaga nti eky’ogerwako kikwata ku kigerageranyo. Namunigina y’ebisale (Unit price) kiba kigerageranyo ekigerageranya omuwendo oba ebisale ku namunigina y’ekipimo (unit of measure) emu. Eky’okulabirako, singa emikyungwa giba gitundibwa siringi 1,200 buli daziini. Namunigina y’ebisale eba 1,200 gabizaamu emikyungwa 12 n’ofuna siringi kikumi buli mukyungwa.

Ekigambo “buli” kiyinza okusikizibwa akabonero "/" mu bukunizo , ekitegeeza siringi 100 buli mukyungwa kiyinza okuwandiikibwa ngasiringi 100/mukyungwa. Mu butuufu mu nsi ey’obusuubuzi, omuguzi n’omutunzi bombi betaaga okuba abannyonnyofu mu bigeraageranyo (rates) okusobola okulaba nga tewali afiirizibwa.

Ebikunizo by’obulaamu obwa bulijjo bingi bibaamu ebigerageranyo bya emisinde, ebikozesa obuwanvu n’ebiseera. Era tuyinza okubalanguza ebikunizo bino nga tukozesa emigendaganyo(proportions) n’ebitondeko by’ekisalaganyo(cross products).