Ekigimusa ekya mazzi

Bisangiddwa ku Wikipedia

EKIGIMUSA EKY’AMAZZI (TEALIQUID MANURE) EkIgimusa Kino eky’amazzi kiwa ekirime, emmere, ekisobozesa okukola mu kiseera kyakyo kyekikuliramu. Engeri y’okukolamu ekigimusa kino: Bino wansi by’ebintu ebyetaagisa okukola:- - Obusa bw’ente, embuzi, obumunyu ne kalimbwe w’enkoko. - Ensawo (kutiya) engumu. - Ebikoola by’emiti oba omuddo nga birimu ekiriisa, n’okusobola okuvunda amangu. - Emiti emigumu egy’ebikondo (ebiwanirira ensawo). - Tteeka ebimenyeddwa mu nsawo, bwe biba bisobola ouweza kilo 1 okutuuka ku kilo 50, obisibe ku muti waggulu nga mugumu okusobola okulengejjera mu drum (ppipa0 ng’ensawo trtuddeemu. - Ffuna amazzi amayonjo ebidomola kumi ogasse mu drum mwotadde ensawo,. Oteekamu negakoma waggulu ( kuba gali gokka gaba n’obuka bungi nnyo). - Buli nnaku 3 olina okujja n’osukundamu (n’onyenyamu) mu nsawo okumala abbanga ery’ennaku 12- 14, amazzi gano (ekigimusa) gaggya kuba gatuuse okweyambisibwa ku birime byo. Ekigimusa kino eky’amazzi ky’ekikola nga (Rapid grow) wabula kyo tokissa ku bukoola, wabula okukifukirira ku bbali (wansi) w’ek irime (okwetolola). Omulundi gumu mu buli nnaku musanvu okumala ennaku 14 – 21 ng’obungi bwoteeka ku birime nga emboga, bbiringanya, entula, ennyanya byandibadde gulamu 250 mu’nnaku musanvu ezisooka oba gulamu 500 mu ‘nnaku kumi nannya ezisembayo. N’omilimi atalina ppipa asobola okokozesa ekidomola oba ekintu ekirala kyonna omusobola okutabulirwa. Eky’okwekkanya: (a) buli lw’okunnganya eby’okuukozessa ekigimusa kino (kilo 1) oba olina okussaamu kilo 5 oba 4 ez’ebigimusa ne zzissibwamu amazzi litres 20. Eky’okwekkanya ekirala: Bw’omala okukunnganya ebyo byonna, n’ossaamu n’amazzi bikkako bireme kubunguka nga bituyanye, ekiseera kyonna kyebimala mu ppipa, oba mu kidomola.