Ekigobensonga (Dialectics)
Omuzimbi w'emiramwa Muwanga akozesa emiramwa:
(i)Ekigobensonga=Ekikolwa eky'okugoba ensonga (Dialectics)
(ii) Eggobansonga = Essomo erigoba ensonga ( Dialectic)
(iii) Ekigobansonga= Ekibalangulo ekigoba ensonga (Variation Math)
Ekigobensonga kwe kukontana okutwala entabaganya mu maaso.Mu kukubaganya ebirowoozo okugoba ensonga kitegeeza:
(a) Okunoonya okumanya
(b) Okunoonya amazima
(c)Okunoonya ekituufu
(d)Okunoonya enjawulo eri mu bifaanagavu n’obumu bw’ebyawukanu
(e)Okunoonya obumu bw’ebikontana
(f) Okwekebejja ensonga okuva ku buli ludda oba okuva ku nsonda ez’enjawulo
EEkigobensonga(dialectics) n’olwekyo ssomo erikwata ku nsonga ezo waggulu.
(ii) Omugobansonga(Dialectician)
Toyinza kunnyonnyoka mulamwa gwa “ntabaganyabantu”( society) nga tofunye kutegeera mulamwa gwa ggobansonga (akakwate ak’ensonga akali ku buli kintu n’ekirala mu butonde). Eggobansonga (dialectics) kikwata ku bumu bwa kukontana okuli mu butonde ne mu ntabaganya, ekikuumira buli kintu awamu.
Ekibeezaawo buli kimu kukontana wakati wakyo n’ekirala oba munda mwakyo mwennyini. Emboozi teyinza kuba nnyuvu singa abateesa baba n’endowooza emu nga tewali aleetayo kirowoozo kya njawukana.
Amateeka g’obutonde agafuga obwengula gonna “mateeka ga “ggobansonga” (laws of dialectics), mw’olabira obumu bw’ebikontana obw’ekyewuunyo, obwengula na buli ekibulimu kwe buyimilidde.
Okukontana okuli mu bwengula kwe kukuuma buli kimu okulabika mu nsengeka ey’ekibalo mwe kiri mu ngeri y’emu okukontana okuba mu ntabaganyabantu bwe kuvuga enkulaakulana zonna eziba mu ntabaganya.
Tewali kugenda mu maaso awatali kukontana. Okukontana kuno kwe kukwataganya buli kintu n’ekirala mu nsengekera y’obutonde (in the natural system).
Okusinziira ku ndowooza y'eekigobensonga(dialectical thinking) , buli kintu kirina akakwate n’ekirala ne bwe biba nga mu nkula birabika okuba nga bya njawulo.
Eno y’ensonga lwaki “omugobansonga” (dialectician) atuuka ku kumanya okutuufu (ensonga) ng’anoonya enjawulo wakati w’ebifaanagana ate n’atuuka ku kumanya obumu bw’ebitafaanagana oba ebikontana ng’anoonya obumu bwayo. N’olwekyo okumanya kuva mu kunoonya na kuzuula bumu bwa bikontana n’enjawulo eri wakati w’ebifanagana.
Mu kumanya enneeyisa n’enkula y’entabaganya, ky’osooka okumanya kwe kuba nti tewali kitaliiko kukontana era ssinga tewaaliwo kukontana tewandibaddewo nkulaakulana yonna mu ntabaganya ne mu bwengula bwonna okutwalira awamu.
Okukontana kwe kuleetawo okutambula kwa buli kintu. Omuntu okusobola okutambula obulungi nga adda mu maaso walina okubaawo okukontana wakati w’emikono n’amagulu ge.
Gezaako otandike okutambula n’okugulu kwo okwa kkono olabe oba omukono gwo ogwa kkono tegudde mabega nga gulinga oguwakanya okugulu okugenze mu maaso. Buli lw’okuba oluta ng’odda mu maaso omukono oguli ku ludda lw’okugulu okugenze mu maaso nga gudda emabega. Okwo sikukontana okukutwala mu maaso?
2.2 Ekigobensonga mu mbeera y’ebyenfuna.
Ekigobensonga (okukontana) mu mbeera y’ebyenfuna kwe kukontana okuviirako enkyukakyuka ez’omuggundu mu mbeera y’entabaganya ey’ebyenfuna mu byafaayo era kino kintu kya byafaayo.
N’olwekyo enkyukakyuka mu byobufuzi nakyo kintu kya byafaayo mu ngeri y’emu enkyukakyuka mu byenfuna bwe kiri ekintu eky’ebyafaayo kubanga okukontana mu mbeera ezibaddewo kwe kuvaako enkyukakyuka zino.
2.3 Obuzimbe bw’entondeka y’ebyobugagga mu byobufuna (political economy) bunnyonnyolwa n’emiramwa emikulu ebiri:
(i) Omusingi gw’ebyenfuna (Economic base)
(ii) Sebasitula oba sebuzimbe (Superstructure)
Waliwo “akakwate ak’ensonga” era akayitibwa “akakwate akatasattululwa” (dialectical relationship) wakati w’Omusingi gw’Ebyenfuna ne Sebasitula; buli sebasitula lw’akyuka nga n’omusingi gw’ebyenfuna gukyuka okukondera obwetaavu ate era kino kiri bwe kityo buli musingi gwa byanfuna lwe gukyuka.
Omusingi gw’ebyenfuna gukolebwa omutindo gwa tekinologiya ne sayansi awamu n’enkolagana z’ebyenfuna ate Sebasitula akolebwa ebitongole by’obukulembeze nga ebibiina by’obufuzi, enkola z’amateeka, ebyengigiriza, eddiini, eby’obuwangwa, eby’okwerinda, kooti ne palamenti, okunokoolayo ebimu.