Ekika ky'AKasimba
Ekika ky'AKasimba, nga kikulirwa Omutaka Kabazzi Mitti David Nampuuma, kye kimu ku bika ebyali mu Buganda oba Mumassekati ga Uganda . Abantu b'ekika kya Kasimba bayitibwa Ab'akasimba (Obumu: Ow'akasimba ). Ab’ekika kino Baganda era boogera olulimi Oluganda .

Emitwe
[kyusa | kolera mu edit source]Kabazzi kye kitiibwa ky’akulira ekika ky'AKasimba. Omutaka kitiibwa kya buli mukulu w’ekika. [1] [2]
Emiziro gy'ekika
[kyusa | kolera mu edit source]Omuziro omukulu, Omuziro, ke Kasimba . [3] Omuziro ogw'okubiri, akabbiro, ye Ngo ( Ngo ). [3] Omuntu ow’ekika kya Kasimba takkirizibwa kulya oba okulumya Akasimba.
Enkula
[kyusa | kolera mu edit source]Kabaka (Ssaabataka) .
[kyusa | kolera mu edit source]Kabaka wa Buganda y’akulira ensengeka y’ebika [4] era abakulu b’ebika, Bataka (obungi bw' Omutaka) [5] ) bali wansi we.
Omukulu w'Ekika (Ow'Akasolya)
[kyusa | kolera mu edit source]Akulira Kasolya (akasolya) y'Omutaka Kabazzi. [3]
Ekitebe ky'Ekika (Obutaka) .
[kyusa | kolera mu edit source]Ekifo awasangibwa ekitebe ky'ekika ( Obutaka ) kiri Kyango, Mawokota, Disitulikiti y'e Mpigi, Uganda . [1] [2]
Omubala gw'ekika (Omubala) .
[kyusa | kolera mu edit source]Omubala gw'ekika ( omubala ) oba enjogera ( emibala ) ze zino: [1] [2]
- Kiiso: bwe kikulaba obulungi, naawe okiraba .
- Kababembe
Emirimu n'obuvunaanyizibwa mu Lubiri
[kyusa | kolera mu edit source]Abaali mu kika kya Kasimba baali Baweesi ba Kabaka era nga bebakola Olubugo lwa Kabaka.
Amannya g'ekika (Mannya g'ekika ) .
[kyusa | kolera mu edit source]Amannya agasooka oba agasembayo g’abantu ab’ekika kino gaawukana okusinziira ku kikula ky’omuntu (Omusajja oba Omukazi). Amannya agamu ga bulijjo eri abantu bonna ab’ekika naye agamu gasinga kukozesebwa mu bitundu ebyenjawulo ( Essiga ) eby’ekika. [6] [7] Mumazima, amanya agamu Essiga erimu lyegakozesa gayinza okuba nga gaava mukika ekirala, okugeza okusinzzira mu Kubbula ( Okugeza okutuuma omuntu okuva mumuntu oba omugenzi webali bagalana ennyo).[6]
Amannya g'abalenzi
[kyusa | kolera mu edit source]Amannya g’abalenzi agamu agali mu kika kino ge gano: [6] [8] 1. Bakulumpagi 2. Buyondo 3. Jeero 4. Kisawuzi 5. Kisiriinya 6. Kiyemba 7. Lubyayi 8. Mabuzi 9. Mazinga 10. Mazzi 11. Mbaziira 12. Nampuuma 13. Sseruwo 14. Walukagga 15. Kabuubi Luyijja
Amannya g'abawala
[kyusa | kolera mu edit source]Amannya g’abawala agamu agali mu kika kino ge gano: [6] [8]
1. Nnabazzi 2. Nnakawungu of (Nakawungu) 3. Nnakiyemba or (Nakiyemba_ 4. Nnaluwo or (Naluwo) 5. Nnaluwooza or (Naluwooza) 6. Nnamazzi or (Namazzi) 7. Nnandagire or (Nandagire)
Abatutumufu mu kika
[kyusa | kolera mu edit source]- Peter Mazinga, Eyali omuzannyi w'omupiira mu KCC FC.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 "Buganda Clans". Retrieved 26 July 2025.
- 1 2 3 "kasimba clan". Archived from the original on 14 August 2025. Retrieved 26 July 2025.
- 1 2 3 Kiingi, K (2009). Enkuluze ya Oluganda eya e Makerere [Makerere Luganda Dictionary] (2nd ed.). Kampala: Fountain Publishers. p. 92. ISBN 978-9970-02-613-5.
- ↑ Roscoe, John (2022). The Baganda: an account of their native customs and beliefs (in English). Legare Street Press. ISBN 9781015918757.
{{cite book}}: CS1 maint: unrecognized language (link) - ↑ Chesswas, J.D. (2014). The Essentials of Luganda (in English) (4th ed.). Nairobi: Oxford University Press. p. 14.
{{cite book}}: CS1 maint: unrecognized language (link) - 1 2 3 4 Nsimbi, M.B. (April 1980). "Luganda Names, Clans, and Totems". Munger Africana Library Notes (in English). California Institute of Technology (52–53).
{{cite journal}}: CS1 maint: unrecognized language (link)Nsimbi, M.B. (April 1980). "Luganda Names, Clans, and Totems". Munger Africana Library Notes (52–53). California Institute of Technology. - ↑ Kiingi, K.B. (2009). Enkuluze ya Oluganda eya e Makerere [Makerere Luganda Dictionary] (2nd ed.). Kampala: Fountain Publishers. pp. 93–102. ISBN 978-9970-02-613-5.
- 1 2 "kasimba clan names". Archived from the original on 14 August 2025. Retrieved 26 July 2025.