Jump to content

Ekika ky'Enjaza

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ekibumbe Ku Luguudo Kabaka-anjagala (Royal mile) mu Kampala kyoleka endabika yebisolo ebiyitibwa Enjaza ogumu ku miziro gyebika bya Baganda.

Ekika ky'Enjaza kyekimu ku bika byabantu Abaganda mu Bwakabaka bwa Buganda . Abeddira ejaza omuziro gwabwe Njaza mu lungereza enjaza eyitibwa Reedbuck . Enjaza kyekimu ku bika ebitaano (5) binnansangwa mu Buganda era kyaliwo nga ne Kabaka Kintu (eyatandika oluse lwa Bakabaka abafuga Buganda okutuusa leero) tannajja . Ebika by'Abaganda ebirala ebigwa mu mutendera ogumu n'Enjaza kuliko; effumbe, Engeye, Nnyonyi Nyange, N'olugave. Kigambibwa nti bannansangwa bano baasibuka Bunyoro nebasenga e Kiwawu mu Saza Busujju oluvanyuma gyebava okudda mu Saza Kyaggwe[1]

Ebyafaayo biraga nti Kabaka Kintu agenda okulya Obwakabaka mu Buganda nga ekika ky'Enjaza weekiri era nga okusinga abeddira enjaza baasangibwa nnyo mu Saza Kyaggwe. Obutaka bwabwe bwali Kirugu yadde nga oluvannyuma bwasengulwa okudda e Kkonko mu Kyaggwe. Engeri Kyaggwe awali obutaka bw'Enjaza gyeriraanye Obwa Kyabazinga bwa Busoga, abataka banji mu kika Kyenjaza baatuumibwa nnyo ku mirimu emitongole egy'Obwakabaka mu Busoga. Kubano kuliko; Masanso eyatumibwa Kabaka Kyabaggu okumukiikirira e Busoga era nakuba embuga e Butiki kumpi ne Jinja. Masanso eyeddira Enjaza yeyali omukungu wa Kabaka wa Buganda asinga okuba owa waggulu mu Busoga.

Olunaku lumu, Masanso yakyalira Kabaka wa Buganda mu lubiri okumunnyonyola ku ntambuza y'emirimu mu Busoga Kabaka namubuuza,"Waguma okusigala e Busoga?" mu ngeri eyali egenderedde okugezesa obuvumu bw'omwami wa Kabaka ono okutuukiriza emirimu. Masanso mu ngeri eyoleka obuvumu yaddamu Kabaka nti "Naguma". Kale okuva olwo, Masanso naawebwa ekitiibwa kya Waguma. Abeddira enjaza banji baalya obwami obwenjawulo mu Busoga era nga mu biro ebyo Busoga yali efugibwa wansi wa Buganda mungeri y'ettwale. [2]

Obuvunaanyizibwa bw'abeddira Enjaza.

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu nnono za Buganda buli kika kiriko omulimu omutongole gwekikola mu lubiri (eri Kabaka) nabwekityo Omulimu ogw'ab'Ekika ky'eNjaza gwa kuyiggira Kabaka enjovu mu Mabira naddala e Kyaggwe. Kino kyajja olwokuba eno gyebalina obutaka ate nga enjovu zaaliyo nnyingi nnyo. Nakati ab'Enjaza bebakyali abayizzi ba Kabaka abakulu.

Okutambuza emisolo, n'amakula ga Kabaka okuva e Busoga okutuuka e Buganda nabwo bwali buvunaanyizibwa bwabwe.

Bano era baakola nga ba Ssentala (abawooza omusolo) mu katale e Kigungu nga wano wewaatuukiranga ebyamaguzi ebisinga okuva buvanjuba bwa Buganda.

Mu kika ky'Enjaza era mwemwava omwami Kaggwa Ndikumulaga eyali avunaanyizibwa ku mirimu mu kusima ennyanja ya Kabaka e Mengo. [3]

Ebyenkizo ku kika

[kyusa | kolera mu edit source]
Omuziro . Njaza
Akabbiro. Ngujulu
Omukulu w'Ekika (Omutaka) . Kitanda
Obutaka . Kkonko, Kyaggwe
Omubala Ow'omugugu aliguta.

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.obutaka.com/clans/clan-history/njaza-history
  2. https://www.obutaka.com/clans/clan-history/njaza-history
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.obutaka.com/clans/clan-history/njaza-history