Ekika ky'Envuma

Ekika ky'envuma kimu ku bika bya Buganda. kino kiteeberezebwa okuba ekimu ku bika ebyatondebwawo oluvannyuma lwa Kabaka Kato Kintu okulya Obwakabaka bwa Buganda . Envuma kigambo kya Luganda mu Lungereza ekiyitibwa ' Pearl '
Buli Muganda ayina ekika mwava era buli kika buli kimu nga kirina omuziro gwakyo . [1]
Ebyafaayo
[kyusa | kolera mu edit source]Ebyafaayo byekika Kino bitandika n'omusajja Kyaddondo (lino era lyerinya ery'omutaka akulira ekika ky'abeddira envuma) eyajja e Buganda ne Kabaka Kato Kintu bweyali ajja okutabaala Bbemba asobole okufuuka Kabaka . Kyaddondo agambibwa okuba nga ava Bubembe mu bizinga by’e Ssese. Kyaddondo yagatta abalwanyi be ne Kintu mu lutalo olwali e Mangira mu Kyaggwe okulwana ne Bbemba ow’e Buddo eyali Kabaka wa Buganda ow'ebiro ebyo. Olw'obuweereza bwe mu kuleeta Kintu yaweebwa obwa Sabaddu wa Buganda . [2]
Engero zigamba nti envuma okufuuka omuziro kyava ku lunaku lumu Kyaddondo bwe yali asaabala (okutambulira) mu kaato wakati w’ekizinga Bubembe ne Funve e Ssese era nga mu kaato yalinamu ensigo ey'envuma eyamuseererako n’egwa mu mazzi n'ebbira wansi ku ntobo ye nnyanja. Kyaddondo kwe kulagira abali mu kibinja kye nga kwotadde n’abaana be okunoonya ensigo eno (envuma) okutuusa nga ezuuliddwa mu mazzi kyokka nebatasobola kujifuna. Kyaddondo bwatyo yalagira abaana nabazukulu Okweddira envuma eno eyabulira mu nnyanja. Omuyigo gwenvuma guno gweguvaako enjogera egamba nti "Ogutateganya teguzza Nvuma". Ekitegeeza nti buli kintu okukifunamu wabaawa okufuba.
Ebyenkizo ku kika
[kyusa | kolera mu edit source]| Omuziro | Nvuma |
| Akabbiro | Katinvuma |
| Omukulu w'Ekika(Omutaka) | Kyaddondo |
| Obutaka (Ensibuko) | Kawempe, Kyaddondo |
| Omubala | Mpaawo adduka, Mpaawo adduka, aliddayo e Kyaddondo. |
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Obwakabaka bwa Buganda
- Kabaka wa Buganda
- Ekika kya Mpologoma
- Ekika kya Nvubu
- Ekika ky'Empindi
- Ekika ky'Olugave