Ekika ky'Obutiko
Ekika ky'oButiko (Mushrooms clan), ekikulirwa Omutaka Ggunju Matia Kawere, era kye kimu ku bika ebiri mu Buganda oba Mu massekati ga Uganda . Abantu b’ekika ky'Obutiko bayitibwa Ab’obutiko (Obumu: Ow’obutiko ). Ab’ekika kino Baganda era boogera olulimi Oluganda .

Emitwe
[kyusa | kolera mu edit source]Ggunju kye kitiibwa ky’omukulu w’ekika ky'Obutiko. Omutaka kitiibwa kya buli mukulu wakika. [1] [2]
Emikziro gy'ekika
[kyusa | kolera mu edit source]Omuziro omukulu, Omuziro, bwe Butiko.[3] Omuziro ogw'okubiri, akabbiro, ye ( Nnamulondo ). [3] Omuntu ow’ekika ky'Obutiko takkirizibwa kulya oba okulumya Obutiko oba wadde Obutiko obutaliibwa.
Enkula
[kyusa | kolera mu edit source]Kabaka (Ssaabataka) .
[kyusa | kolera mu edit source]Kabaka wa Buganda y’akulira ensengeka y’ebika [4] era abakulu b’ebika, Abataka (Obungi bw' Omutaka) [5] ) bali wansi we.
Omukulu w'Ekika (Ow'Akasolya)
[kyusa | kolera mu edit source]Omukulu w'Akasolya (akasolya) ye Mutaka Ggunju. [3]
Ekitebe ky'Ekika (Obutaka) .
[kyusa | kolera mu edit source]Ekifo awasangibwa ekitebe ky'ekika ( Obutaka ) kiri Bukalango, Busiro, Disitulikiti y'e Wakiso, Uganda . [1] [2]
Omubala gw'ekika (Omubala) .
[kyusa | kolera mu edit source]Omubala gw'ekika ( omubala ) oba enjogera ( emibala ) bye bino: [1] [2]
- Weekirikite, Ggunju ajja
- Gabolokota teggwa nte .
Emirimu n'obuvunaanyizibwa mu Lubiri
[kyusa | kolera mu edit source]Abali mu kika ky'Obutiko baali Baweesi ba Kabaka.
Amannya g'ekika (Mannya g'ekika).
[kyusa | kolera mu edit source]Amannya agasooka oba amannya agasembayo g’abantu abava mu kika kino gaawukana okusinziira ku kikula ky’omuntu (Omusajja oba Omukazi). Amannya agamu ga bulijjo eri abantu bonna ab’ekika naye agamu gasinga kukozesebwa mu bitundu ebyenjwaulo ( Essiga ) eby’ekika. [6] [7] Mumazima, amannya agamu Essiga erimu lyegakozesa gayinza okuba gava mu kika kirala, okugeza oluvannyuma lw'Okubbula (okugeza okutuuma omuntu okuva mu muntu oba omugenzi gweyali ayagla ennyo).[6]
Amannya g'abalenzi
[kyusa | kolera mu edit source]Amannya g’abalenzi agamu ab’ekika kino ge gano: [6] [8] 1. Balinnya 2. Bbirikadde 3. Ddibya 4. Kabu 5. Kabuusu 6. Kagombe 7. Kasirye 8. Katimbo 9. Kawere 10. Kisuule 11. Kyazze 12. Lumala 13. Mubiru
Amannya g'abawala
[kyusa | kolera mu edit source]Amannya g’abawala agamu abali mu kika kino ge gano: [6] [8] 1. Nnabagereka (or Nabagereka) 2. Nnajjuka (or Najjuka) 3. Nnakyagaba (or Nakyagaba) 4. Nnakyazze (or Nakyazze) 5. Nnalugunju (or Nnalugunju) 6. Nnamberenge (or Namberenge) 7. Nnamulondo (or Namulondo) 8. Nnannoni (or Nannoni) 9. Nnakakaawa (or Nakakaawa)
Abatutumufu mu kika
[kyusa | kolera mu edit source]- Brigadier General Augustine Kyazze omuserikale omukulu mu magye mu ggye lya Uganda People's Defence Forces .
- Omugenzi Thomas Kawere yali mukubi wa bikonde era omutendesi.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 "Buganda Clans". Retrieved 26 July 2025.
- 1 2 3 "butiko clan". Retrieved 26 July 2025.
- 1 2 3 Kiingi, K (2009). Enkuluze ya Oluganda eya e Makerere [Makerere Luganda Dictionary] (2nd ed.). Kampala: Fountain Publishers. p. 92. ISBN 978-9970-02-613-5.
- ↑ Roscoe, John (2022). The Baganda: an account of their native customs and beliefs (in English). Legare Street Press. ISBN 9781015918757.
{{cite book}}: CS1 maint: unrecognized language (link) - ↑ Chesswas, J.D. (2014). The Essentials of Luganda (in English) (4th ed.). Nairobi: Oxford University Press. p. 14.
{{cite book}}: CS1 maint: unrecognized language (link) - 1 2 3 4 Nsimbi, M.B. (April 1980). "Luganda Names, Clans, and Totems". Munger Africana Library Notes (in English). California Institute of Technology (52–53).
{{cite journal}}: CS1 maint: unrecognized language (link)Nsimbi, M.B. (April 1980). "Luganda Names, Clans, and Totems". Munger Africana Library Notes (52–53). California Institute of Technology. - ↑ Kiingi, K.B. (2009). Enkuluze ya Oluganda eya e Makerere [Makerere Luganda Dictionary] (2nd ed.). Kampala: Fountain Publishers. pp. 93–102. ISBN 978-9970-02-613-5.
- 1 2 "Butiko clan names". Archived from the original on 9 September 2025. Retrieved 26 July 2025.