Jump to content

Ekika kye Ffumbe

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ekika kya Ffumbe, nga kikulirwa Omutaka Walusimbi, kyali kimu ku bika binnansangwa mu Buganda oba Mumasekkati ga Uganda . Ab’ekika ky’eFfumbe bayitibwa Ab’effumbe (Obumu: Ow’effumbe ). Ab’ekika kino Baganda era boogera olulimi Oluganda .

Walusimbi ky'ekitiibwa ky’omukulu w'ekika ky'e Ffumbe. Omutaka kitiibwa kya bulijjo eri buli mukulu w’ekika. [1] [2]

Ebika n'emiziro

[kyusa | kolera mu edit source]

Omuziro . [3] akabbiro, kye kikere. [3] Omuntu ow’ekika ky'e Ffumbe tateekeddwa kulya oba okulumya effumbe.

Kabaka (Ssaabataka) .

[kyusa | kolera mu edit source]

Kabaka wa Buganda y’akulira ensengeka y’ebika [4] era abakulu b’ebika, Bataka (plural form of Omutaka) [5] ) be bali wansi we.

Omukulu w'Ekika (Ow'Akasolya)

[kyusa | kolera mu edit source]

Akulira Kasolya ye Omutaka Walusimbi. [3]

Obutaka bw'ekika

[kyusa | kolera mu edit source]

Obutaka bw'ekika buli Bakka, Busiro mu Disitulikiti y'e Wakiso, Uganda . [1] [2]

Omubala gw'ekika .

[kyusa | kolera mu edit source]

Omubala gw'ekika guvuga nti: [1] [2]

  1. Galinnya e Bakka .
  2. E Bakka basengejja (mbu tebiggwa Bukka) .
  3. Kasolo ki? Ffumbe
  4. Ka muti gumu
  5. Kakozaakoza alikoza mu lw'effumbe
  6. Taatuuke Bumpi

Emirimu n'obuvunaanyizibwa mu Lubiri

[kyusa | kolera mu edit source]

Ab'ekika ky'e Ffumbe beebaali abasawo/ abajanjabi ba Kabaka (Were Kabaka's medicine men). [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (July 2025)">okujuliza kwetaagisa</span> ]

Amannya g'ekika.

[kyusa | kolera mu edit source]

Amannya g'ekika kino gaawukana okusinziira ku kikula ky’omuntu (Omusajja oba Omukazi). Amannya agamu ga bulijjo eri abantu bonna ab’ekika naye agamu gasinga kukozesebwa mu bitundu ebitundu eby'enjawulo ( Essiga ) eby’ekika. [6] [7]​ Mu butuufu, amannya agamu agakozesebwa mu Ssiga gayinza okuba nga gaava mu kika ekirala, gamba ng'okubbulwa (kwe kugamba okutuuma omuntu erinnya ly'omuntu omulala gwe baagala ennyo oba eyafa gwe baali baagala ennyo [6]

Amannya g'abalenzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Amannya g’abalenzi abamu ab’ekika kino ge gano: [6] [8]

    1. Bakka
    2. Balimwezo
    3. Ggolola
    4. Kafumbe
    5. Kajoba
    6. Kalema
    7. Kasolo
    8. Kaweesa
    9. Kigozi
    10. Kimuli
    11. Kisitu
    12. Kiwendo
    13. Lukomwa
    14. Lubwama
    15. Luzinda
    16. Mabikke
    17. Magunda
    18. Mayambala
    19. Mpanga
    20. Musaazi
    21. Nagaya
    22. Nsobya
    23. Ntege
    24. Nvule
    25. Senkaba
    26. Sennoga
    27. Ssebaggala
    28. Ssebirumbi
    29. Ssekadde
    30. Ssempala
    31. Ssengendo (or Sseŋŋendo)
    32. Ssentumbwe
    33. Ssewakuka
    34. Walusimbi 

Amannya g'abawala

[kyusa | kolera mu edit source]

Agamu ku mannya g’abawala abamu agali mu kika kino ge gano[6] [8]

    1. Nabaggala
    2. Nabakka
    3. Nabumba
    4. Nabwami
    5. Nakafumbe
    6. Nakasi
    7. Nakaweesa
    8. Nakawungu
    9. Nakigozi
    10. Nakimuli
    11. Nakindi
    12. Nakku
    13. Nalubwama
    14. Nalumansi
    15. Namammonde
    16. Nampala
    17. Namusaazi
    18. Nandugga
    19. Nangendo (or Naŋŋendo)
    20. Nannozzi
    21. Nantaba
    22. Nanteza
    23. Nnaabalamba
    24. Nnakanyike
    25. Nnanvule
    26. Zaawedde 

Abamanyifu ennyo ennyo mu kika

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Eyali Katikkiro, Yinginiya John Baptist Walusimbi yali wa kika kya Ffumbe.
  2. Eyali Ssaabawolereza wa Uganda, Omugenzi Pulofeesa Kiddu Makubuya .
  3. Eyali omumyuka wa Chancellor mu Yunivasite y’e Makerere, Omugenzi Pulofeesa Livingstone Luboobi .
  4. Eyali Katikkiro wa Uganda, Omugenzi Apolo Nsibambi

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 "Buganda Clans". Retrieved 26 July 2025.
  2. 1 2 3 "ffumbe clan". Archived from the original on 24 June 2025. Retrieved 26 July 2025.
  3. 1 2 3 Kiingi, K (2009). Enkuluze ya Oluganda eya e Makerere [Makerere Luganda Dictionary] (2nd ed.). Kampala: Fountain Publishers. p. 92. ISBN 978-9970-02-613-5.
  4. Roscoe, John (2022). The Baganda: an account of their native customs and beliefs (in English). Legare Street Press. ISBN 9781015918757.{{cite book}}: CS1 maint: unrecognized language (link)
  5. Chesswas, J.D. (2014). The Essentials of Luganda (in English) (4th ed.). Nairobi: Oxford University Press. p. 14.{{cite book}}: CS1 maint: unrecognized language (link)
  6. 1 2 3 4 Nsimbi, M.B. (April 1980). "Luganda Names, Clans, and Totems". Munger Africana Library Notes (in English). California Institute of Technology (52–53).{{cite journal}}: CS1 maint: unrecognized language (link)
  7. Kiingi, K.B. (2009). Enkuluze ya Oluganda eya e Makerere [Makerere Luganda Dictionary] (2nd ed.). Kampala: Fountain Publishers. pp. 93–102. ISBN 978-9970-02-613-5.
  8. 1 2 "Ffumbe clan names". Archived from the original on 29 April 2025. Retrieved 26 July 2025.