Jump to content

Ekikulembero (Lead)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Lead electrolytic

Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Akaziba k'Ekikulembero era kayitibwa Atomu y’Ekikulambiro (Lead atom) mu Luganda.

Ekikulembero (lead) kaziba kazito nnyo nga kaba kakyali kaggumivu (stable) n’obukontanyo 82 awamu ne nampawengwa 125, nga kasingako katono ku ya makyule mu buzito. Obutafaanana byuma birala, Ekikulembero tekiyitamu masannyalaze bulungi.

Ekikulembero kyonna mu bwengula kyava munda mwa njuba. Kubanga ekikulembero kirina enzitoya nnene, abantu bakozesa enzitoya yakyo okukola obuzito (weights) n’okukola amasasi. Enzitoya ennene ewa essasi ly’ekikulembero entebentuka (momentum) ey’amaanyi.

Ekikulembero era kigonderera nnyo ate nga tekifuma (does not corride) nnyo, n’olwekyo kikozesebwa mu kuzimba, nga okukwatagannya ennyingo ku busolya okuziiyiza amazzi okuwaguza.