Ekirandaggo(Circumlocution)
Endabika
Okusinziira ku Muwanga Charles mu kitabo kye "the Methods of Creating Scientific neologisms in Luganda" , ekirandaggo kiva mu kikolwa kya kulandagga, okukozesa ebigambo ebingi okujjayo omulamwa.Eky'okulabirako , mu kifo ky'okuwandiika "obuwangaaliro"(environment) n'ogamba:
(i) Obutonde bw'ensi , oba
(ii) Obutonde bw'ensi mwe tuwangaalira
Ekyo kikolwa kya kulandagga era ekivaamu kiyitibwa "kirandaggo"(circumlocution)