Ekisannyalazo
Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Ekisannyalazo oba Kyagi y’Amasannyalaze(Electric charge)
Ekisannyalazo(kyagi), kintu ekiri mu mbeera y’ebitonde ekireetawo ensikirizo(force of attraction) , eno nga y'empalirizo esikiriza oba ensindikirizo (empaliririza esindikiriza = force of repulsion) mu kubaawo kw’ekintu ekirala.
Mu kunyonyola okwangu , ensolo ensajja bw’esemberera enkazi efuna okusikirizibwa okwegatta nayo. Kino kigerageranyizibwa n’ensikirizo mu masanyalaze. Ate ensolo ensajja oba enkazi bwesembererwa ensajja oba enkazi endala tewabaawo kisikiriza kw’egatta wabula buli emu okugenda ekole ebirala ebigigasa oba okunoonya enkazi oba ensajja okutwalira awamu. Kino kigeraagelanyizibwa n’ensindiikirizo(repusion) mu masanyalaze agali mu butonde.
Ekisannyalazo(Kyagi y’amasanyalaze) kintu ekiri mu buli kitonde ekikireetera okufuna amasindiikirizo(amasoboza agasindiikriza) oba amasikirizo(amasoboza agasikiriza nga kiri kumpi n’ekintu ekirala ekirina kyagi y’amasanyalaze.
Ekisannyalazo (Kyagi y’amasanyalaze) kibeera mu bika bibiri, ebiyitibwa pozitiivu ne negatiivu. Ebintu bibiri ebirina kyagi eya pozitiivu bifuna ensindiikirizo (repulsive force), eno nga eba empalirizo esiniikiriza mu kiseera ky’ekimu nga buli kimu kyekandula okuva ku kirala. Era ebintu ebibiri ebirina ekisannyalazo ekya negatiivu bwe bikola. Kyagi y’amasanyalaze ebalibwa mu "nansannyalaze" (Coulomb). Nnansannyalaze kiva mu bigambo by'Oluganda "namunigina y'ekisannyalazo"(unit of charge)