Jump to content

Ekisannyalazo(Charge)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Current charge relationship

Gakuweebwa Charles Muwanga Ekisannyalazo(Kyagi)

Ekisannyalazo era tukyewola ne tukiwandiika nga "kagi" . Mu mbeera eya bulijjo, obuziizi (atoms) tebuba na kisannyalzo . Kino kiva ku kuba nga omuwendo gw’obukontanyo obulina kyagi eya pozitiivu gwenkana n’omuwendo gw’obusannyalazo obulina kyagi eya negatiivu, ekitegeeza nti akaziba kaba kaggumivu(the atom is stable).

Kyokka waliwo embeera eyinza okureetera akaziba okufuna ekisannyalazo(kyagi) ne kafuuka fuuka vatomu=atomu egenze mu mbeera erimu okuva kw’obusannyalazo(ion), okuva mu kaziba akamu okudda mu kalala. Ekisannyalazo (kyagi) ky’akaziba kikyuka kubanga akaziba kaba kayingizza obusannyalazo obupya ekikafuula okuba ne kyagi(ekisannyalazo) eya negatiivu oba nga efulumizza obusannyalazo okuva mu muyitiro gwabwo, ekikafuula okuba ne kyagi eya pozitiivu. Akaziba tekaviibwako bukontanyo bwe kalina, so ng’ate kayinza okuviibwako obumu ku bukontanyo oba “obusannyalazo obw’ekiyayaano”(valency electrons).