Ekisinziiro (Hypothesis)
Ekisinziiro nakyo kiba kigambululo . Muwanga agamba nti "ekisinziiro"(hypothesis) kiva mu bigambo "ekigambululo kw'osinziira".
Okwebuuza n’okukola ebisinziiro (hypothesizing).
Bannasayansi basinziira ku bigambululo ebiyitibwa "ebisinziiro" okunnyonnyola obutonde ku nsi. Beebuuza ki ekiyinza okubaawo singa ebisinziiro byabwe biba bituufu.
Okugezesa ebisinziiro bino gwe mulamwa gwe’enkola eya sayansi. Emyekebejjo gya sayansi (Scienfic activities) egimu gisobozesa abato okwenoonyeza okumanya awatali kufa ku mitendera gya nkola ya sayansi kyokka oluusi abato banyumirwa kalonda w’enkola ya sayansi, n’olwekyo kyetaagisa okulaga abato emiramwa okuyita mu :
- Okwekebejja
- Okukola ekiteeberezo (ekisinziiro)
- Okukola engezeso oba enkakaso
Ekisinziiro ky’okunoonyereza.
Ekisinziiro ky’okunoonyereza (Hypothesis) kiba kiwandiiko(statement) ekikolebwa munnasayansi kw'asinziira okuddamu ekibuuzo oba okukola ku kakunizo akabaawo.
Okuyita mu kunoonyereza n’okukola engezesa oba enkakaso(experiments) , akakasa ekiwanndiiko(statement) okuba ekituufu ;kino ne kiba nga kikoze ku kakunizo ka sayansi mu nkola ya sayansi oba bw’aba takikakasizza awo n’akyuusa mu kiwandiiko n’okukola okunoonyereza okulala awamu n’enkakaso endala okutuuka ng’atuuse ku butuufu bwa kyo. Kino bwe kiba kigaanidde ddala ekisinziiro kino kisazibwaamu ddala.