Jump to content

Ekituli ky'Ekizikiza

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ekituli ky'ekizikiza (black hole) guba gutundutundu eyo mu bwengula omufumbekedde amaanyi g'obutonde, Gravity, omutasobola kuwaganya kintu n'ekimu nga mw'otwalidde n'ekitangaala.[1]

Ebituli bino byetondawo singa emmunyeenye eba efudde. Kisoboka amaanyi gaayo okw'egatta n'ag'emmunyeenye endala eba eyabise, olwo ekituli ne kikula nga kikwatagana ne binnaakyo.[2]

Wadde nga tebirabika, bino bibeera n'obuzito obutagambika era ensalo zaabyo ziba zibabuukirira, nga muvaamu ebbugumu eryawaggulu. Kino kiva ku bintu enkuyanja ebiba bigenze bimiribwa naddala ebiba bibisemberedde.

Ebinnya by'ekizikiza ebisinga biri wala okuva ku Milky Way wetuli, era bisinga kuba mu masekkati g'amakuŋŋaaniro ga sseŋŋendo agatali gamu. Bizze birabikira mu bitangaaza kubanga tebisobola kulabwaako na maaso.

Embala y'obudde mu byo eba ya njawulo kubanga ebintu biba byekyusa mu ngeri etali ya bulijjo,[3] gamba, essaawa zitambula kasoobo era ebiriwo n'ebyandibadde eby'omumaaso ne bituukawo omulundi gumu.

Mu kyasa eky'e 18, bannassaayansi John Michell ne Pierre-Simon Laplace be baasookera ddala okuwa ekifaananyi ekisaamusaamu ku binnya bino, n'oluvannyuma bangi baagenda bawandiika ebitabo ku byo okuwa obunnyonnyofu obusingawo.

Okubyekenneenya

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga 11-02-2016, ekinnya ekyasooka kyasobola okulengerwako[4] wabula ekitangaaza ki Event Horizon Telescope (EHT) ne kikozesebwa okwongera okwekenneenya ebifaananyi ebyo.[5]

Oluvannyuma lw'akaseera, Apuli 10, 2019 lwafuuka olunaku lw'okw'olesa obuwanguzi ku nsonga eno mu butongole oluvannyuma lw'okufulumya ekifaananyi ky'ekituli ky'ekizikiza mu butuufu bwakyo.[6]

Awatali kiyinza kulabikiramu wadde nga ebibaamu byakakasibwa okuba nga bibaako n'engeri gye bikosebwa, abanoonyereza bakyali mu kaweefube ow'okwongera okutaganjula bwino ku nsonga eno.

Ebisingawo: Emmyanso: The Illumination

  1. Wald 1984, pp. 299–300
  2. Clery D (2020). "Black holes caught in the act of swallowing stars". Science. 367 (6477): 495. Bibcode:2020Sci...367..495C. doi:10.1126/science.367.6477.495. PMID 32001633
  3. Penrose, R. (1965). "Gravitational Collapse and Space-Time Singularities" (PDF)
  4. Schaffer, Simon (1979). "John Michell and black holes". Journal for the History of Astronomy. 10: 42–43. Bibcode:1979JHA....10...42S. doi:10.1177/002182867901000104. S2CID 123958527
  5. Event Horizon Telescope, The (2019). "First M87 Event Horizon Telescope Results. I. The Shadow of the Supermassive Black Hole". The Astrophysical Journal. 875 (1): L1. arXiv:1906.11238. Bibcode:2019ApJ...875L...1E. doi:10.3847/2041-8213/ab0ec7
  6. Abbott, B.P.; et al. (2016). "Observation of Gravitational Waves from a Binary Black Hole Merger". Phys. Rev. Lett. 116 (6): 061102. arXiv:1602.03837. Bibcode:2016PhRvL.116f1102A. doi:10.1103/PhysRevLett.116.061102. PMID 26918975. S2CID 124959784.