Ekiwakanyo (Negation)
Endabika
"Ekiwakanyo" kika kya kigambululo (a negation is a type of statement) .
Mu biwandiiko bye eby'enzimba y'emiramwa gya sayansi mu Luganda , sekalowooleza Muwanga agamba nti oyinza okuba nga obadde oyagala okukola ekigambululo ekyangu(simple statement) okutegeeza ekigambululo ekye'njawulo, ekitegeeza ,ekikontana ekyo kyokoze.Kino kiba kiwakanya ekikkaatirizo ekisooka. Ekigambululo kino kiyitibwa :
"Kiwakanyo"(negation)= ekigambululo ekiwakanya ekigambululo ekirala.
Ekigambululo ekisooka bwe kiba "P" , ekigambululo ekikiwakanya tekiba "P" wabula kiba "-P" . Ekigambululo eky'okubiri ekiriko akalaga aka kiddannyuma(negative sign) kye kiba "ekiwakanyo kya P"(the negation of P).