Ekizinga Bugala
| Part of | Kalangala Disitulikiti |
|---|---|
| Egwanga | Yuganda |
| Located in the administrative territorial entity | Kalangala Disitulikiti |
| Located in or next to body of water | Nnalubaale |
| Located in/on physical feature | Ssese Islands |
| Coordinate location | 0°19′13″S 32°14′38″E |


Ekizinga Buggala, kisangibwa mu Uganda. Kye kizinga ky'omunnyanja eky'ekkumi mu bunene mu nsi yonna. Kiri ku bugazi bwa Kiromita 275( 106 sq mi), era ky'ekizinga ekyokubiri mu bunene mu nnyanja Nalubaale, nga kiddirira ekizinga Ukerewe ekya Tanzania, era kye kizinga ky'omunnyanja ekyokusatu mu bunene mu Africa, oluvannyuma lwa Ukerewe ne Idjwi ekisangibwa mu Democratic Republic of the Congo.[1] Ekizinga kino kitundu ku bizinga by'e Ssese mu Disitulikiti y'e Kalangala. Ekibuga ekikulu ku kizinga Buggala kye kya Kalangala.[2] mu town council y’e Kalangala, mu ssaza ly’e Bujumba mu disitulikiti y’e Kalangala.
Ebikozesebwa ku kizinga Buggala
[kyusa | kolera mu edit source]Ekizinga Bugala kye kisinga okuba n'enkulaakulana ku bizinga ebirala byonna mu disitulikiti y’e Kalangala era kikola ng’amasekkati, n’ekizinga ekikulu. Ekizinga kino kirimu ebyuma bibiri ebikola butto okuva mu binazi,[3] ekimu kisangibwa e Bukuzindu mu ggombolola y'e Mugoye ate ekirala e Bwendero byonna mu ssaza ly'e Bujumba. Era erina oluguudo lwa Murram olwa grade ‘B’ oluva e Luku okutuuka e Kalangala okutuuka e Mulabana nga luweza Kiromita 65.6 nga luno lukola ng’oluguudo olukulu olw’ekizinga. Oluguudo luno lwaddaabirizibwa kkampuni ya Kalangala Infrastructure services ( KIS ) mu 2016. Luno era lwe lugatta n’enguudo endala eziwerako ez'ettaka okuva myalo n'ebifo ebyesudde. Ekizinga Bugala era kirina enguudo ezigatta ennimiro z’ebinazi. Buggala erina amasannyalaze aga hybrid nga gakolebwa Bukuzindu mu ggombolola y'e Mugoye nga gakolebwa kkapuni ya KIS "era nga ekkolero ly'amasannyalaze lino liyitibwa "......Bukuzindu Power Plant. Lino likola amasannyalaze g'enjuba ne dizero aga MW 1.6 ligaba amasannyalaze eri abantu b'ekizinga Bugala wonna mu nnyanja Victoria. Lyatandikibwawo mu Gwekkumineebiri 2014 era lyatandika okukola mu Gwokusatu 2015. Mu kiseera kino ligaba amasannyalaze okusukka amaka agasukka mu 3,397 ne bakkaasitoma b'ebyobusuubuzi 49, omuli wooteeri entono n'ebitongole ebitonotono...." bwe bityo bwe bisoma okusinziira ku bubaka obusangibwa ku mukutu gw'abasaasanya amasannyalaze mu Buggala[4] ogwa website. Nga oggyeko gano amasannyalaze agakolebwayo yennyini, ekizinga Buggala kyayungibwa ku g'eggwanga lyonna mu Gwomukaaga 2024,[5] nga gayita mu wwaya eyita mu mazzi eya kiromita 6 ennene ng’eyita mu nnyanja Victoria okuva e Bukakata mu Disitulikiti y’e Masaka okutuuka e Bugoma ku kizinga Buggala. Ekizinga Buggala era kirimu amasomero ga siniya abiri ku ago ana agali mu disitulikiti y'e Kalangala gano kuliko Bishop Dunstan Nsubuga Memorial Secondary School mu kalangala town council ne Sserwanga Lwanga memorial secondary school mu ggombolola y'e Mugoye. Ebikozesebwa mu by’obulamu ku kizinga Buggala mulimu Kalangala Health centre IV mu kalangala town council n’ebyobulamu ebirala ebya wansi nga health centre III ne II.
Emirimu gy’ebyenfuna egikolebwayo
[kyusa | kolera mu edit source]Abantu ku kizinga Buggala beenyigira mu mirimu ena emikulu nga gye gino;
- Okuvuba
- Ebyobulimi mu nnimiro (Oil Palm growing) .
- Okusuubula eby’amaguzi mu katale
- Bizinensi y'ebyobulambuzi [6]
Abantu abamanyiddwa okuva ku kizinga Buggala
[kyusa | kolera mu edit source]File:Wamala Edward Katumba.jpg
- Gen Edward Katumba Wamala (Eyali IGP wa Poliisi, CDF era nga kati Minisita w’emirimu n’entambula)
- Omugenzi Col. Sserwanga Lwanga (Eyali omubaka wa CA era nga ye kaminsona w’ebyobufuzi mu UPDF [7] / NRA bush War Veteran )
- Omugenzi Hon. Paul Kawanga Ssemogerere [8] (Eyali minisita wa kabineti era omukulembeze w'ekibiina kya Democratic party mu Uganda)
- Omugenzi Hon. Gerald Mutebi Mulwanira [9] (Eyali Minisita w’ettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga)
Ebifo eby’obulambuzi n’ebifo ebirala eby’Obusika
[kyusa | kolera mu edit source]Ekizinga Bugala kisikiriza abalambuzi abawerako okuva ku lukalu mu Uganda nga kw’otadde n’abava ebweru w’eggwanga.
Mu bimu ku bisinga okusikiriza abalambuzi ku kizinga kino mulimu:
- Emyalo gy’omusenyu omweru, okusinga esangibwa Lutoboka, omuli ekifo ekisanyukirwamu ekimanyiddwa ennyo ekya Mirembe resort
- Ekibira kya Luggo Cultural Forest, ekimanyiddwa nga ensibuko ya Ddamula, akabonero k’obuyinza mu Bwakabaka bwa Buganda
- Bugoma, abaminsani Ow’oluganda Amans[10] ne Fr. Siméon Lourdel Marpel (amanyiddwa ennyo nga Mapeera) kiteeberezebwa nti we baakoma.
- Empuku ya John Speke, ekwatagana n’olugendo lw’omuvumbuzi Omungereza ng’anoonya ensibuko y’omugga Kiyira.
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ http://worldatlas.com/aatlas/infopage/islands.htm
- ↑ "Tranquil getaway at Bugala Island". Monitor (in Lungereza). 2021-01-08. Retrieved 2022-10-20.
- ↑ Ministry of Agriculture, Animal Industry and Fisheries. (2021). Palm oil issue. Republic of Uganda. https://www.agriculture.go.ug/wp-content/uploads/2021/04/PALM-OIL-ISSUE-COMPRESSED-1.pdf
- ↑ https://www.kis.co.ug/pages/view-page/Power-Services
- ↑ Daily Monitor. (2024, July 30). Joy as Kalangala’s Buggala Island is connected to power. Daily Monitor. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/joy-as-kalangala-s-buggala-island-is-connected-to-power-4656466
- ↑ "How tourism, oil palm have transformed Ssese Islands". Monitor (in Lungereza). 2025-04-27. Retrieved 2025-12-13.
- ↑ https://www.updf.go.ug/
- ↑ Daily Monitor. (2023, November 27). What you need to know about deceased ex-DP president Ssemogerere. Daily Monitor. https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/reviews-profiles/what-you-need-to-know-about-deceased-ex-dp-president-ssemogerere--4025710
- ↑ Uganda Radio Network. (2024, July 30). Former Bujumba County MP dead. Uganda Radio Network. https://ugandaradionetwork.net/story/former-bujumba-county-mp-dead
- ↑ https://www.peresblancs.org/brother_amans.htm