Jump to content

Ekizino

Bisangiddwa ku Wikipedia

Amazina g'e Ekizino era amanyiddwa nga Kizino mazina g'e kinnansi agasibuka mu Bakiga mu bitundu by'e Kigezi mu bukiikaddyo bw'amaserengeta ga Uganda . [1] [2] [3] [4] Kiva mu bitundu ebirimu obusozi mu kitundu kino, ng'abalimi beenyigira mu kubuuka n’amaanyi okusobola okubuguma n’okugolola ebinywa byabwe oluvannyuma lw’okukola ennyo olunaku lwonna. [5] [6] Amazina g’ekinnansi aga Ekizino geegezesebwamu nga bakozesa amaanyi mangi. [7]

Amazina gano galina ebyafaayo byago naye nga gakwatagana nnyo n’obuwangwa bwa Bakiga. gazinibwa ku mikolo egy’enjawulo. Gatwalibwa ng’amazina g’obwakabaka mu Bakiga b’e Kigezi kati ye Disitulikiti y’e Kabale, Kanungu, Kisoro, ne Rukungiri . [8] [9]

Amazina g'e Ekizino geetabwaamu abasajja n’abakazi nga bambadde engoye z'a Bakiga ez’ennono. Amazina gano galimu entambula ez’amaanyi, gamba ng’okubuuka n’okukonkona, ebiraga emirimu egy’amaanyi egikolebwa abakiga abalimi. [2] [10] Okutwalira awamu goolesebwa mu biseera by’ennaku enkulu, gamba ng’embaga n’okujaguza amakungula, awamu n’enkuŋŋaana ez’okusanyuka endala ez’enjawulo . [2] [11]

Amakulu mu by’obuwangwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Amazina g'E kizino galina amakulu mangi mu by’obuwangwa mu kitundu ky’Abakiga, nga galaga okukola ennyo ekw’obutonde bwabwe. Era gakola ng’engeri y’okutambuza obuwangwa eri emirembe egijja. [2]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.guidetouganda.com/about-uganda/culture/traditional-dances/
  2. 1 2 3 4 https://www.ugandaimmigration.org/news/uganda-traditional-dances-an-integral-part-of-ugandas-culture Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content
  3. https://www.face-music.ch/instrum/uganda_danceen.html
  4. https://www.monitor.co.ug/uganda/business/namulindwa-and-her-troupe-dance-all-the-way-to-the-bank-3838128
  5. https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  6. https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/life/finding-unity-in-music-and-dance-1497238
  7. https://www.dekstours.com/travel-news/bakiga-or-kiga-culture-and-people/
  8. https://www.guidetouganda.com/about-uganda/culture/traditional-dances/
  9. https://www.face-music.ch/instrum/uganda_danceen.html
  10. https://www.guidetouganda.com/about-uganda/culture/traditional-dances/
  11. https://www.face-music.ch/instrum/uganda_danceen.html