Jump to content

Ekkuumiro ly'amazike ku kazinga ka Ngamba

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Ngamba Island Chimpanzee Sanctuary kifo ku kazinga webakuumira n'okuweera obubuddamu mu Uganda, ekyaweebwaayo okulabirira amazike g'omubugwanjuba agafirwaako bazadde bago agaatasibwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisolo by'omu nsiko ekya Uganda Wildlife Authority. Agasinga ku mazige gano gaanunulwa okuva mu bayizzi abagatta nga tebalina bisaanyizo, nga tegayinza kuwona singa gabeera gadizidwaayo mu nsiko. [1] Ekifo kino ekikuumibwa ebisolo kikkirizibwa ekibiina ekigatta ebifo ebikuumirwaamu ebisolo munsi yonna, ekya Global Federation of Animal Sanctuaries.

Wekisingaanibwa

[kyusa | kolera mu edit source]
Ngamba Island Chimpanzee Sanctuary - Camp.
Ekifo webakuumira amazike ku kizinga ky'e Ngamba

Ekizinga Ngamba kiriko yiika 100 (40 ha) ez’ekibira ky’enkuba ekisangibwa ku Nnyanja Victoria, nga bw'okozes eryato, otambulirawo kiromita 23 (14 mi), mu bukiikaddyo bw’obuvanjuba bw’ekibuga Entebbe, okulinaana akasaze akasalamu ensi mu Nnyanja Victoria, Uganda. [2] Ekizinga kino kiwa eddembe ebisolo by’omu nsiko eby’enjawulo era kiwa emmere ey’obutonde eri amazike gano. Kyakolebwa nga pulojekiti etali ya bulabe eri obutonde bw’ensi ng’erina kaabuyonjo za nnakavundira, ewakungaanira amazzi g’enkuba, enkola entuufu ey’okuddukanya kasasiro n’amasannyalaze g’enjuba n’amazzi agookya. [3]

Ngamba Island Chimpanzee Sanctuary - Pallet.
Ekifo webakuumira amazike ku kizinga ky'e Ngamba

Ekifo kino kiddukanyizibwa ekitongole ekitali ku kirubirirwa kya kukola magoba ekya Chimpanzee Sanctuary and Wildlife Conservation Trust (CSWCT). CSWCT kyegatibwaamu ebitongole bya mirundi mukaaga ebyewaayo okukola ookulaba nga bikuuma embeera n'okulabirira ebisolo by’omu nsiko. Abakidukanya beebano:

  • Born Free Foundation
  • <a href="https://en.wikipedia.org/wiki/International_Fund_for_Animal_Welfare" rel="mw:ExtLink" title="International Fund for Animal Welfare" class="cx-link" data-linkid="60">International Fund for Animal Welfare</a>
  • Jane Goodall Institute
  • <a href="https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Wildlife_Conservation_Education_Centre" rel="mw:ExtLink" title="Uganda Wildlife Conservation Education Centre" class="cx-link" data-linkid="64">Uganda Wildlife Conservation Education Centre</a> (UWEC)
  • Environmental Conservation Trust of Uganda (ECOTRUST)
  • Uganda Wildlife Society [4]

Ekifo kino ekikuumibwaamu ebisolo kyakirizibwa ab'ekitongole ekivunaanyizibwa ku kukuuma ebisolo ekya Global Federation of Animal Sanctuaries. [5]

Ekifo kino webakuumira ebisolo kiggulwaawo okwetoloola omwaka gwonna eri abagenyi abasasula omuwendo gwa ssente entono ez’okuyingira okulaba ekimu oba byombi ng'amazike gali mu kulya. Okulambula emisana n’ekiro bakubuukinga nga bayita mu Wild Frontiers Uganda. [4]

Ekizinga Ngamba kyalangirirwa mu lujudde mu Gwekumi 1998 okulabirira amazike agafiisa bazadde baago bombi agaba ganunulwa okuva mu bitundu by'Ombuvanjuba bwa Afrika eby'enjawulo .

Ngamba Island Chimpanzee Sanctuary-The camp
Ekifo webakuumira amazike ku kizinga ky'e Ngambai

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Benon Herbert Oluka & Flavia Lanyero (10 December 2019). "Ngamba Sunctuary: A New Home For Endangered Chimpanzees". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 26 December 2019.
  2. Kibale National Park (3 October 2022). "Ngamba Island Chimpanzee Sanctuary". Kibalenationalparks.com. Retrieved 3 October 2022.
  3. The Chimpanzee Sanctuary and Wildlife Conservation Trust (December 2019). "Welcome to Ngamba Island A peaceful home for rescued chimps". Entebbe, Uganda: The Chimpanzee Sanctuary and Wildlife Conservation Trust. Retrieved 26 December 2019.
  4. 1 2 Eronie Kamukama (25 December 2019). "Ngamba Island: Winding away the wild with chimpanzees". Kampala. Retrieved 26 December 2019. Cite error: Invalid <ref> tag; name "4R" defined multiple times with different content
  5. "Ngamba Island Achieves GFAS Sanctuary Accreditation". Born Free U.K. October 26, 2024. Retrieved October 28, 2024.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]