Jump to content

Ekwaro Obuku

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ekwaro Obuku, Munnayuganda omusawo, omunoonyereza, omukugu mu by’enjigiriza n’enkola y’ebyobulamu, nga ye pulezidenti eyaakavaako ow’ekibiina ekigatta abasawo ekya Uganda Medical Association, ekibiina ekigatta abantu abakugu mu kisaawe kye by'obulamu, nga ky'ekikola Ku byetaago by'abasawo mu ggwanga. [1] Era mu kiseera kino, asoma kufuna Doctor of Philosophy mu Makerere University College of Health Sciences, ng'akolagana ne McMaster University . [2]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Obuku mutabani wa Teo Kibirige Obuku omusawo n'omugenzi Dr. John Brian Obuku omusawo. Kitaawe ava mu Disitulikiti y’e Oyam nga bweyitibwa leero, ate nnyina ava mu bukiikaddyo bw’amaserengeta ga Uganda. Yazaalibwa mu Gwokubiri 1978 mu ddwaaliro lya Victoria Hospital, mu kibuga Kisumu mu Kenya mu kiseera nga famire ye edduse mu bufuzi bwa Idi Amin mu Uganda. Ekwaro mwana wa kusatu mu maka ag'abaana omusanvu. [3]

Ekwaro yasomerako mu masomero g'e Kenya nasale ne pulayimale. Mu 1992, yakomawo mu Uganda n’awandiisibwa mu ssomero lya St. Mary's College Kisubi era eno gye yaggya Ebbaluwa Y'okumaliriza Siniya Ey'omukaaga. Yayingira Ssettendekero wa Makerere mu 1998 ku sikaala okuva mu National Council of Sports, okusoma obusawo bw’abantu n’okuzannya ensero . Mu 2003, yatikkirwa e Makerere n’afuna diguli esooka mu by’obusawo n'eyokulongoosa abantu . Yalekera awo okuzannya ensero okw'ekikugu mu Falcon Guards olw’obwetaavu bw’okusoma diguli y’obusawo. [3]

Mu 2009, yatikkirwa diguli eyookubiri eya Sayansi mu by’okugezesa eby’obujjanjabi, okuva mu London School of Tropical Medicine, gye yali asomye ku sikaala eyaweebwa ekibiina kya European and Developing Countries Clinical Trials Partnership . [3] Bwe bwatuukira mu Gwekkuminoogumu gwa 2019, yali asoma Doctor of Philosophy mu nkola y’ebyobulamu mu nteekateeka ey’awamu wakati wa Makerere University College of Health Sciences, mu Uganda ne McMaster University e Canada. [2]

Ekwaro yagesebwa mu ddwaliro eddene erya Arua Regional Referral Hospital . Yagenda mu maaso n’okukolerayo oluvannyuma lw’okugezesebwa, mu kitongole ky’abaana, ng’alungamizibwa Christine Ondoa, omusawo w’abaana eyeebuuzibwako, oluvannyuma eyaweereza nga Minisita w’ebyobulamu n’oluvannyuma omuwabuzi wa pulezidenti. Oluvannyuma yasindikibwa mu ddwaliro lya Mungula Health Centre IV, mu Disitulikiti y’e Adjumani . Yalina okuvaayo, oluvannyuma lw’emyezi mitono olw’obutali butebenkevu, obwali buleetebwa abayeekera ba Lord’s Resistance Army, obwali buyitiridde mu kiseera ekyo. [3]

Yasenguka n’agenda e Kampala n’apangisibwa Dr Dickson Opulu, ng’omusawo omukungu mu ddwaaliro lya Uganda Workers’ Treatment Centre mu Kampala ne Jinja . Bwe yali eyo, yeenyigira mu kuteekawo enkola y’eggwanga n’ensi yonna ey’okujjanjaba abakozi akawuka ka siriimu. Yatandika okukolagana ne Yunivasite y’e Makerere n’ekitongole ekinoonyereza ku bujjanjabi ekya Joint Clinical Research Center, ku bujjanjabi n’okuziyiza akawuka ka siriimu. Okuva mu 2010 okutuuka mu 2013, Obuku yaweerereza mu Institute of Human Virology mu University of Maryland School of Medicine ng’omuwabuzi omukugu mu kulwanyisa akafuba . [3]

Bwe yali mu Uganda Medical Association

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2012, Obuku yeegatta ku kibiina ekigatta abasawo ekya Uganda Medical Association. Omwaka ogwaddako, yalondebwa okuba omuwandiisi w’eby'okulanga n’okukunga abantu. Oluvannyuma yalondebwa ku bwa ssaabawandiisi nga tavuganyiziddwa. Nga 9 Ogwomwenda, 2017 ku Hotel Africana, yalondebwa ku bwa pulezidenti okumala emyaka ebiri egyaddirira. [3] [4]

Ekwaro Obuku mufumbo era alina abaana musanvu. [3] [5]

Ebirala ebyalowoozebwako

[kyusa | kolera mu edit source]

Dr. Ekwaro Obuku asomesa essomo mu Systematic Reviews ng’omu ku nteekateeka ya Diguli Eyookubiri mu Sayansi oba MSc Clinical Trials ey’ewala, mu ttendekero lya London School of Tropical Medicine. Asomesa n’essomo lya Evidence Synthesis mu MSc mu Clinical Epidemiology and Biostatistics mu yunivasite y’e Makerere mu Uganda. [2] [3]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.softpower.ug/opinion-a-tribute-to-dr-ekwaro-obuku/
  2. 1 2 3 https://www.mcmasterforum.org/lets-collaborate/people/bio/ekwaro-obuku
  3. 1 2 3 4 5 6 7 8 https://web.archive.org/web/20191204101350/https://observer.ug/news/headlines/56052-obuku-a-doctor-the-state-loves-to-hate.html
  4. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1467896/uganda-medical-association-president-attacked-thugs
  5. https://www.independent.co.ug/dr-ekwaro-obuku-doctor-purpose/