Jump to content

Ekyalakanu

Bisangiddwa ku Wikipedia
Karamojong Shepherd
Omulunzi w'e Karamojong

Ekyalakanu kika kya mere ya kinaansi eya bulijjo eriibwa abantu b’e Karamojong, eggwanga ly’Abanilotic mu kitundu ky’e Karamoja mu bukiikakkono bw’obuvanjuba bwa Uganda, nga banywa omusaayi omubisi ogutabuddwamu amata. Ennono ebaddewo okumala emyaka mingi mu kitundu ky’Abakaramojong abatambulatambula n'ebisolo byebabeera balunda.[1] Enkola eno ey’ekinaansi ekolebwa mu mikolo egy’enjawulo ng’egy'okugata abafumbo, entalo, n’okujaguza oluvannyuma lw’okuyigga obulungi ne mu kujaguza olw'okuzaala abaloongo ng'omuzigo gugatibwamu obugi bw'omuweba nga batabiseemu amata n'omusaayi ebiweebwa abalongo okunywa.[2][3] Omusaayi gukungulwa oluvannyuma lw'okukuba ente efumu ku bulago okuguletera okufukumuka, nga guno gulembekebwa nga bakozesa esepiki, oluvannyuma nebagutabulamu omusaayi kibasobozese okunywebwa. E Karamoja, ebisolo tebitera kuttibwa lwa nnyama, bwe bimala okufa enva eyabulijo, ennyama eriibwa buliibwa. enkola eno ekakasa okulindibwa kw'egana ly'ente nga ddene ezifulumya amata amangi n'omusaayi.[4][5]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Atamba, Sharon (2023-08-12). "Consumption of Raw Blood-Milk Mixture Phasing out Among the Karamojong - Explorer Uganda". explorer.co.ug (in American English). Retrieved 2025-02-12.
  2. "Karimojong treat twins as a blessing". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2025-02-12.
  3. Client, U. B. (2024-01-16). "Blood taking in Karamoja | Uganda Cultural Tours | Uganda Tour". Uganda Budget Safaris (in American English). Retrieved 2025-02-12.
  4. polly (2024-01-25). "Interesting facts about Karamoja region | Uganda Safaris". Kidepo Valley National Park (in American English). Retrieved 2025-02-12.
  5. admin (2023-06-01). "The Karamojong Tribe & Culture In Uganda". Vibrant Holiday Safaris (in American English). Retrieved 2025-02-12.