Jump to content

Elijah Mushemeza

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Elijah Dickens Mushemeza nga yazaalibwa 26 Ogwokubiri mu 1964, mu Disitulikiti y'e Sheema, mu bitundu by'Omubugwanjuba bwa Uganda, nga muyivu, muwandiisi, era munnabyabufuzi abuteeka munkola. Ono Pulofeesa mu Sayaansi w’Eby'obufuzi n’Okuddukanya Enkulaakulana, nga bino abisomesa ku Yuniivasite y’e Ankole esinganibwa mu Gwanjuba bwa Uganda, era nga ye muwi w’amagezi omukulu mu ACODE. Emabegako yaliko akulira etendekero ewasinganibwa abasomesa abayigiriza Eby’obusuubuzi n'emisomo gy'enkulaakulana ku Bishop Stuart University e Mbarara mu Uganda. Ye pulofeesa omugenyi mu Bishop Stuart University.

Yafuna diguli Mu by'emisomo egy'enjawulo mu By’obulamu, Diguli ey'okubiri mu By'enjigiriza eby'enjawulo mu By’enkulaakulana, ne Diguli ey'Okusatu mu Sayaansi W'eby'obufuzi ku Makerere University. Yeebuzibwaako ku by’enjigiriza, enfuga, obwavu, eby'obufuzi, entalo, okukaka abantu okusenguka, eby'okwerinda, amafuta ne gaasi, n’ensonga z’enkulaakulana, ng'okutwaliza awamu mu kitundu kya Great Lakes mu Afrika.

Emabegako yaliko omukwanaganya wa pulogulaamu ya MA mu nkolagana y’ensi yonna n’okusoma kw'abakungu mu kitongole kya Sayaansi w’Eby'obufuzi n'Ezirukanya y’Emirimu gya Gavumenti ku Makerere University. Asomesezaako mu Yunivasite y’e Mbarara eya Sayaansi ne Tekinologiya. Mushemeza yaliko ku kakiiko akafuzi ak’enjawulo aka Council for the Development of Social Science Research in Africa. Afulumizza ebiwandiiko ebiwerako mu butabo bw'ensi yonna. Ye musunsuzi w'ebiwandikibwa mu kitabo ekiyitibwa Journal of Development Issues . Ebweru w’eby’enjigiriza, Mushemeza akola nnyo munabyabufuzi mu Uganda. Yali memba mu lukiiko lwa ssemateeka olwa 1994 ne 95 olwakubaganya ebirowoozo, okwekenneenya, okusaawo amateeka, n’okulangirira ssemateeka wa Uganda, era nga Mubaka wa Paalamenti ya Uganda mu 1996. Yali muwabuzi wa pulezidenti ku ddaala lya minisita omukulu mu kabineeti era nga mu myuka wa ssentebe w’akakiiko k’Eby'okulonda mu kibiina kya National Resistance Movement, ekibiina ekiri mu buyinza mu Uganda okuva mu 2010, okutuusa mu 2015.

Mu kitabo kye, The Politics and Empowerment of Banyarwanda Refugees in Uganda, 1959–2001, [1] Mushemeza anoonyereza ku ngeri ababundabunda Banyarwanda gye baatuuka ku mitendera egy’ensonga egy’okwegatta mu bantu ba Uganda olw’engeri gyebayingira mu by'embeera z’abantu, eby'enfuna, n’obuwangwa eby'efanaanyirizi eby’abantu ba Uganda mu bitundu gye baasenga. Singa gavumenti ya Uganda "teyalemererwa" ku nkomerero y'emyaka gya 1970 ne 1980, ababundabunda bano bandibadde baafulibwa batuuze ba ggwanga. Wadde nga kumpi ababuundabuunda bonna aba Hutu n’Abatutsi baatuuka ku mitendera egy’amakulu egy’okwegatta (nga abamu bwe baayisibwa obubi era nga batulugunyizibwa n’olulimi lw'okuyisaamu amaaso), abakulembeze baabwe n’abamu ku bakulu tebagwaamu ssuubi lya kirooto kyabwe eky'okuddayo ewaka. Omukisa gw’okuddayo gwatuuka negujja mu mbeera y’olutalo lw’omunda mu Uganda olwaliwo okuva mu 1981 okutuusa mu 1986. Abanyarwanda ababuundabuunda ku kukozesa eryaanyi n'obutabanguko bwa NRM/NRA ekyabasobozessa okufuna eby'obufuzi, obukungu, n’obukugu mu by'amagye, bye baakozesa mungeri enaambulukufu okutuukiriza ebigendererwa byabwe eby’okunyweza.

Mushemeza afulumizza nnyo ebiwandiiko mu butabo obuli ku mutendera gw'ensi yonna ne mu ggwanga omuli CODESRIA, ACODE [2] ne CEWIGO. [3] Era ye Musunsuzi w'ekitabo ekiyitibwa Journal of Development Issues .

Wabweru wa yunivasite, Mushemeza ali nnyo mu by'obufuzi bya Uganda. Yali memba w’Olukiiko Olufuzi olwa Ssemateeka 1994–95) olwakubaganya ebirowoozo, okwekenneenya, okusaawo n’okulangirira Ssemateeka wa Uganda, era yali memba wa paalamenti ya Uganda mu 1996. Yaliko Omumyuka wa Ssentebe w’Akakiiko k’Eby'okulonda mu kibiina kya National Resistance Movement, [4] ekibiina ekifuga mu Uganda.

Elijah Mushemeza abadde mufumbo ne Irene Mushemeza okuva mu 1994. Beebazadde b’abaana bataano.

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Mushemeza, E. D. (2007). The Politics and Empowerment of Banyarwanda Refugees in Uganda 1959–2001. Kampala: Fountain Publishers.
  2. "Archived copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 7 February 2016. Retrieved 7 January 2014.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. "Monitor implementation of the National Action Plan for UNSCR 1325, 1820 and Goma Declaration", CEWIGO.
  4. Emmanuel Mulondo, "Uganda: Museveni Appoints New NRM Electoral Commission", The Monitor, 25 October 2010. AllAfrica.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]