Eliphaz Maari
Eliphaz Maari (yazaalibwa 1954) mulabirizi wa Anglican mu Uganda era nga yaweereza nga Assistant Bishop w’essaza ly’e Kampala okuva mu 1997 okutuuka mu 2004, era yakola emirimu egy’obukulembeze egy’oku ntikko mu kusomesa eby’eddiini mu kkanisa y'Abakulisitaayo oba Anglican.[1][2] Era yeeyali akulira yunivasite ya Uganda Christian University.
Obuto n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Maari yazaalibwa mu 1945 era yatendekebwa mu by’eddiini n’obuweereza nga tannatuuzibwa. Yeenyigira mu kusomesa obusumba n’obukulembeze bw’Ekkanisa ku ntandikwa y’omulimu gwe, okukkakkana ng’alina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu by’ensoma n’eby’ekkanisa mu Kkanisa ya Uganda.[3]
Obuweereza bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 1997, Maari yalondebwa okuba Omumyuka w'Omulabirirzi w'obulabirizi bwa Kampala, ng’aweereza wamu ne Ssaabalabirizi Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo ng’omu ku bakulembeze ab’oku ntikko mu kkanisa y’amasaza. Mu kiseera kye eky’obulabirizi, yakola ku kulondoola bannaddiini, okulabirira abasumba, n’okuddukanya obulabirizi okutuusa lwe yawummula ekifo kino mu 2004.[4][5]
Obukulembeze bwe mu Uganda Christian University
[kyusa | kolera mu edit source]Maari yakola kinene nnyo mu kutondawo ne mu bukulembeze obwasooka obwa Uganda Christian University (UCU). UCU bwe yatandikibwawo mu 1997, ng’ava mu Bishop Tucker Theological College. Maari yaweereza nga Omumyuka w'omukulu wa yunivasite ow'ekiseera mu myaka gya yunivasite eno nga etandika, n’ayamba okulungamya enkyukakyuka yaayo okufuuka yunivasite y’Ekikulisitaayo erina ekiwandiiko ekigikkiriza oba charter. Ebyafaayo bya UCU ebitongole biwandiika ku mulimu gwe ogw’obukulembeze mu kiseera yunivasite eno bwe yali ng'etandika okukula. [6]
Omukululo gwe
[kyusa | kolera mu edit source]Okusukka obuweereza bw'obulabirizi, Maari bye yakola mu kusomesa eby'eddiini n'amatendekero aga waggulu ng'ayita mu UCU byayamba okunyweza amaanyi g'Ekkanisa ya Uganda mu kutondawo bannaddiini n'abakulembeze b'eddiini n'abakulmbeze ab'abulijjo mu by'ensoma okwetoloola East Africa.[7]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Ekkanisa ya Uganda
- Obulabirizi bwa Kampala
- Uganda Christian University
- Abalabirizi b’Abangereza mu Uganda
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "History - Uganda Christian University" (in American English). 2023-09-13. Retrieved 2025-12-18.
- ↑ "Provincial Secretary and CMS official named new bishops in Uganda". www.anglicannews.org. Retrieved 2025-12-16.
- ↑ survey-smiles.com http://survey-smiles.com/. Retrieved 2025-12-19.
{{cite web}}: Missing or empty|title=(help) - ↑ Ivan, Naijuka (19 December 2025). "The Consecration Magazine" (PDF).
{{cite journal}}: Cite journal requires|journal=(help) - ↑ "Anglican Communion in Crisis: How Episcopal Dissidents and Their African" Hassett, M.K. p217: New Jersey; Princeton University Press; 2009 Template:ISBN
- ↑ "History - Uganda Christian University" (in American English). 2023-09-13. Retrieved 2025-12-18.
- ↑ "History - Uganda Christian University" (in American English). 2023-09-13. Retrieved 2025-12-18.
- Anglican News
- "Anglican Communion in Crisis: How Episcopal Dissidents and Their African" Hassett, M.K. p217: New Jersey; Princeton University Press; 2009 Template:ISBN
- CS1 American English-language sources (en-us)
- CS1 errors: missing title
- CS1 errors: bare URL
- CS1 errors: missing periodical
- Abalabirizi b'Abakulisitaayo ab'ekyasa kyabirimwekimu mu Uganda
- Abalabirizi b'Abakulisitaayo aba Kampala
- Abakozi ku ludda lw'ebyensoma aba Uganda Christian University
- Abazaale ba 1954
- Abantu abalamu