Jump to content

Elizabeth Muwanga

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Elizabeth Muwanga Alalo Munnayuganda eyali omuyambi w’akaliisoliiso wa poliisi mu ggwanga (AIGP) era akulira ekitongole kya Directorate of Welfare era nga yaweereza mu Poliisi ya Uganda okumala emyaka egisoba mu 37. Yali mukyala wa poliisi mu Uganda eyasooka okutikkirwa. [1] [2] [3] Yeegatta ku poliisi mu 1980 nga abantu 26 bokka be bayingizibwa nga ye mukyala yekka eyayingizibwa. [1] [4]Yasiimibwa ng'omu ku baserikale ab'oku ntikko mu poliisi mu Uganda [5] era ng'abakazi ataano abasinga okusenguka mu Uganda mu 2011. [6]

Elizabeth Muwanga pulayimale yagisomera ku Rubaga Primary School oluvannyuma ne yeegatta ku Trinity College Nabbingo okusoma Siniya eyookuna ne Siniya Eyoomukaaga. [1] Oluvannyuma Elizabeth yeegatta ku Ssettendekero wa Makerere n’akola diguli mu by’obufuzi n’eby’obulamu. [1] [7]

Muwanga yeegatta ku poliisi mu 1980 era ye mukyala yekka eyalowoozebwako mu Bannayuganda 26 abaatwalibwa e Dar es Salaam okutendekebwa. Yalinnya mu madaala mu kiseera kye yamala mu mateeka okuva ku Cadet, Assistant Superintendent of Police (ASP), akulira ekitundu kya welfare era n’afuuka Assistant Inspector General Of Police eddaala ery’okusatu mu buwanvu mu Uganda Police Force . [1] [8] [7] [3]

Yatambula n’agenda e Naguru ne banne okuyingizibwa mu matendekero gabwe. [1] Wabula oluvannyuma yakyusibwa n’atwalibwa e Dar es Salaam okwongera okutendekebwa oluvannyuma lwa wiiki bbiri nga paasipooti zaabwe zikolebwako. [1][7][9]. Ye ne banne baali ku Tanzania Police Staff College gye baali bayita Chuo Kuu Chaa Poliis e Dar es Salaam mu Tanzania okumala emyezi mwenda era oluvannyuma yadda mu Uganda nga wabula emyezi mitono okutuuka ku kulonda kwa bonna, Milton Obote mweyawangulira obwa pulezidenti wa Uganda mu 1980. Oluvannyuma lwokumaliriza okutendekebwa e Dar es Salaam, ye yali Cadet Officer era oluvannyuma naaweereza nga Assistant Superintendent of Police. [1] [7] Yalinnya amadaala era nafuuka Assistant Inspector General of Police [10][11][7][12], era nga yaakulira eby'endabirira by'aba Poliisi mu Uganda n'abantu baabwe[1][13][7].Bwe yali akola nga Assistant Inspector General of Police, yayogera ku muwendo gw’okukabasanya abakyala abayingizibwa mu poliisi ogwali gweyongedde. [14] [7] Nga tannakwata kifo kya Assistant Inspector General of Police, yaweebwa omulimu okuba Omukungu wa Police akulira poliisi y'eJinja, Omu ku bakungu ba Police mu ttundutundu ly'Obukiikaddyo Bw'obuvanjuba, Quarter Master mu Materekero ga Police, Deputy Commissioner of Police, United Nations Mission mu Darfur. [6]

Nga 17 Gwomusanvu 2007, yali omu ku baserikale ensanvu okuva mu Poliisi ya Uganda abeetaba mu musomo ogwali gukwata ku mawulire ogw’olunaku olumu ku Kkooti Y’ensi Yonna ogw’ali mu Kampala. [15] Ku lunaku lwe lumu bwe yali mu musomo ogwategekebwa ku Lunaku lw’Obwenkanya mu nsi yonna, yeeyali Commissioner of Police in-Charge Non-Human Resource era yeeyawa okwogera okuggalawo ku lw’omuduumizi wa poliisi omukulu ng’akubiriza ICC okutegeka omusomo ogufaananako bwe gutyo eri bannaabwe abakolera mu Bukiikakkono bwa Uganda. [15] Wabula kati akooye oluvannyuma lw’okuweereza poliisi okumala emyaka egisukka mu 37. [7] Yava mu poliisi ya Uganda mu 2019 bwe yali akola nga dayirekita akola ku by'endabirira n’okuteekerateekera ng’endagaano ye bwe yalwawo okuddizibwa obuggya. [16]

Mu kiseera kye yamala ng’aweereza yalwanirira obwenkanya mu bapoliisi abakyala abaakosebwa okukabanyizibwa era n’akubiriza n’abakyala okuyingira poliisi. [17] Yakakasa nti embeera y’abaana n’abakyala b’abaserikale ba poliisi eyongera okutereera mu kiseera ky’obukulembeze bwe ng’akulira ekitongole kya Directorate of Welfare. Ng’ayita mu mukama we IGP Kale Kayihura yawaayo amayumba, ennyingiza z'awaka n’amaduuka agataliiko musolo munda mu bbaalakisi . [18] [7]

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Jajja w'abalongo.[7]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

 

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 6 7 8 9 https://www.newvision.co.ug/news/1008083/elizabeth-muwanga-uganda-eur-graduate-police-woman
  2. ↑ https://upf.go.ug/police-women-gender-sensitization-workshop/
  3. 1 2 https://www.independent.co.ug/why-contracts-of-six-aigps-are-yet-to-be-renewed/
  4. ↑ "Elizabeth Muwanga: Uganda’s first graduate Police woman". New Vision. Retrieved 2025-04-14.
  5. ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2025-05-31. Retrieved 2025-08-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. 1 2 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/today-s-uganda-top-fifty-women-movers-1487802
  7. 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 https://www.newvision.co.ug/news/1081426/police-instates-interdicted-officers
  8. ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1081426/police-instates-interdicted-officers
  9. ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/president-accords-former-igp-odomel-official-burial--4934016
  10. ↑ https://upf.go.ug/promotions-police-officers/
  11. ↑ https://chimpreports.com/new-list-thousands-of-police-officers-promoted/
  12. ↑ https://upf.go.ug/police-women-gender-sensitization-workshop/
  13. ↑ https://www.ugandaradionetwork.net/story/uganda-police-reaches-out-to-its-children?districtId=505
  14. ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/aigp-female-victims-of-sexual-harassment-silent?districtId=731
  15. 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2025-04-15. Retrieved 2025-08-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  16. ↑ https://www.independent.co.ug/why-contracts-of-six-aigps-are-yet-to-be-renewed/
  17. ↑ "AIGP: Female Victims of Sexual Harassment Silent". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Retrieved 2025-04-07.
  18. ↑ https://www.ugandaradionetwork.net/story/uganda-police-reaches-out-to-its-children?districtId=727