Jump to content

Elizabeth Nalugemwa

Bisangiddwa ku Wikipedia

Elizabeth Nalugemwa (yazaalibwa Ogw'ekkumi 16, 1994), ayitibwa Achiever, Munnayuganda omutandisi w'emirimu , omulimi era Omutandisi akulira kkampuni ya Kyaffe Coffee Farmers. [1][2][3] okuva mu disitulikiti ye Masaka .

Yasiimibwa ekitongole kya Obama Foundation mu 2018 olw’omulimu gwe yakola mu kutumbuula abakyala abalimi ba kaawa n’okubaagazisa eby'obukulembeze mu kitundu.[4][5][6]

Ebyafaayo n’obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Nalugemwa yazaalibwa era n’akulira mu disitulikiti y’e Masaka ne nnyina yekka eyalina abaana mukaaga era nga yali mulimi wa mwaanyi era azitunda. [4] Yasoma satifikeeti eya waggulu mu by’obusuubuzi ku Mutessa Royal University, Dipulooma mu by’obusuubuzi mu Nsamizi Training Institute of Social Development mu Disitulikiti y’e Mpigi.[4] Oluvannyuma lw’okufuna dipulooma, yadda e Kampala okunoonya emirimu .

Yakizuula nti ebika by'emwaanyi ebisinga ebisangibwa mu zisemaduuka biviira bweru wa ggwanga era nga buli kkiro eseerebwa okusinziira ku mulimi zeyafunangamu.[4] Yatandika n'okwokya ensiga z'emwaanyi mu ngeri ey'obukugu ng'akozesa esigiri y'amanda zeyatundanga mu Kampala olwo n'afuna omukisa n'ekitongole ekya Consortium for enhancing University Responsiveness to Agribusiness Development Limited(CURAD) ekyamukwasizaako muntandikwa nga kirongoosa kaawa n'okupakinga . [4]

Mu 2017 Kyaffe Farmers Coffee yatandikibwawo era n'esobola okufuna ettaka lyaayo mu 2019.

Nalugemwa mutandisi w'emirimu,mulimi, era Omutandisi wa Kyaffe coffee(Kyaffee kitegeeza 'waffe' mu lulimi lwe oluzaaliranwa, Oluganda ), bizinensi y'omu bantu gyeyawaayo okutumbula embeera z'abakyala abalimi b'emwanyi n'abaana baabwe nga bayita mu kutondawo obugagga mu byalo n'okukyusa z'abantu mu bitundu eby'omubyaalo n'abakyala absoba mu 1,500. [7][8][9][10]

Ono ye mutandisi wa Seedloans eyamba abakyala abalimira ewatono mu Uganda okulima ennyo okusobola okuliisa amaka gaabwe.[11][12][13] Y'akulira essomero lya Kyaffe Junior era nga mukugu mu by'obuwangwa.

Nalugemwa muwandiisi ku nkyukakyuka mu mbeera z'abantu era yawandiika ebitabo bisatu, omuli 'Grand mama's', 'No shame' tekuli kyafulumiziddwa.[14] Ye mutandisi w'ekibiina kya Bambobiz ekizaamu abalina ebitone amaanyi nga bayitira mu kukola ebisesa n'ebifaananyi ebya tekinoligiya ebiraga obulamu olw'enkyukakyuka mu mbeera z'abantu.[14]

Ng'ayita mu mikago n'enkolagana ennungi ey'amalwaliro n’amasomero, abalimi wamu n'abaana baabwe basobola okufuna obuyigirize obw’omutindo n’obujjanjabi obw’amangu. Kyaffe erongoosa emwaanyi nezikolebwamu ebintu ebirala ebitundibwa era n'essente ezigibwamu ziyambako okuddukanya pulojekiti z'ebitundu okuli amasomero ne Kyaffe Coffee Center.[1]

Atendeka abakyala okutandika okulima emwanyi nga za bizinensi.

Mu 2018, Kyaffe yatandika pulojekiti y'okukola amanda agafumbisibwa nga gava mu mwaanyi nga bakozesa obukuta bw'emwaanyi obwandibadde busuulibwa.[15]

Engule n’ebituukiddwaako

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Omukulembeze w'ekitongole kya Obama 2018.
  • Omuwanguzi w'engule y'abakyala okukomya enjala mu 2019.[16]
  • 2019 Abakyala Bakomye Enjala Mu Bufalansa, Paris. [17]
  • 2020 Abaatuuka ku fayinolo y'ekirabo kya AFS ekitegekebwa buli mwaka eri abavubuka bannansi b'ensi yonna.[18][19]
  • Ekitongole kye ekya Social startup Seedloans kyeyatandikawo n'omuyizi wa ODID(Merlin Stein) mu 2021 kyawangula ekirabo ekisooka mu mpaka za Fowler Global Social Innovation Challenge (GSIC).[20]
  • Yatuuka ku fayinolo mu pulojekiti ya The Pamoja Founders Project mu 2024 kyokka teyawangula.[21]

Ayagala nnyo okusoma era Mukristaayo.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 https://en.wikipedia.org/wiki/Chief_executive_officer
  2. https://en.wikipedia.org/wiki/Chief_executive_officer
  3. https://en.wikipedia.org/wiki/Chief_executive_officer
  4. 1 2 3 4 5 {{cite web}}: Empty citation (help)"How 25-year-old Nalugemwa adds value to organic coffee". Monitor. 2021-01-03. Retrieved 2025-04-02.
  5. https://en.wikipedia.org/wiki/Empowering_women
  6. https://en.wikipedia.org/wiki/Empowering_women
  7. https://en.wikipedia.org/wiki/Social_business
  8. https://en.wikipedia.org/wiki/Social_business
  9. https://en.wikipedia.org/wiki/Social_business
  10. https://en.wikipedia.org/wiki/Social_business
  11. https://en.wikipedia.org/wiki/Social_business
  12. https://en.wikipedia.org/wiki/Social_business
  13. https://en.wikipedia.org/wiki/Social_business
  14. 1 2 https://en.wikipedia.org/wiki/Social_business
  15. https://en.wikipedia.org/wiki/Briquette
  16. https://en.wikipedia.org/wiki/Briquette
  17. https://en.wikipedia.org/wiki/Briquette
  18. https://en.wikipedia.org/wiki/Briquette
  19. https://en.wikipedia.org/wiki/Briquette
  20. https://en.wikipedia.org/wiki/Co-founders
  21. https://en.wikipedia.org/wiki/Co-founders

Ebiyungo eby’ebweru

[kyusa | kolera mu edit source]