Jump to content

Elizabeth Ntege

Bisangiddwa ku Wikipedia
Elizabeth Ntege
omuntu
Ekikulamukyala Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Erinnya eriweereddwaElizabeth Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza, Luganda Kyusa
Omulimuomutandisi w’emirimu, investor, teacher, engineer Kyusa
GyeyasomeraDe Montfort University, Chartered Management Institute Kyusa
Academic degreeBachelor of Engineering Kyusa

Elizabeth Ntege Munnayuganda yinginiya, mutandisi w'amirimu, muyiiya, musomesa, era mulwanirizi wa nkyukakyuka mu bya tekinologiya okwetoloola Afirika yonna avugibwa okukkiriza.[1] Ye Ssentebe w’olukiiko olufuzi olw’ekibiina ki Information Communication Technology Association (ICTAU), omu ku Batandisi era Akulira kkampuni ya NFT Consult Group okuva mu Gwoluberyeberye 2021, NFT Mobility, NFT Ignite ekolera mu mawanga mukaaga mu Buvanjuba bwa Afirika era nga yakola nga mmemba atali ba lukiiko olufuzi owa Stanbic Bank Uganda.[1][2][3]

Yakola nga yinginiya mu kkampuni nga Uganda Telecom, British Telecom, BT Concert ne D-link Europe ey'e Bulaaya.[1][4]

Yasoma Diguli esooka eya masannyalaze (BEng) mu byuma bikalimagezi, Systems Engineering (okuva mu 1989 -1993) ku yunivasite ya De Montfort Leicester (DMU). Dipuloma mu by’okuddukanya emirimu ku ttendekero lya Chartered Management Institute (2006).

Ntege yakolako ne Uganda Telecom, British Telecom, BT Concert, ne D-Link Europe nga yinginiya okumala emyaka egisukka mu 10 era nga Integrator era Omuwabuzi ku Bizinensi ku The Innovation Village okuva mu Gwokubiri 2020 okutuuka Ogwekkumi 2020.[5]

Y'omu ku batandisi ba NFT Consult Group eyatandika mu 2005 okutuusa leero n’emirimu gyayo mu mawanga 12 mu Buvanjuba bwa Afirika ne mu Bukiikaddyo bwa Afirika, Akulira NFT Consult Ltd, okuva mu Gwoluberyeberye 2021 okutuusa kati wamu n'obwa dayirekita W'enteekateeka n'Emirimu okuva mu Gwokusatu 2005 - Ogwekkumineebiri 2019, yalondebwa mu Gwokubiri 2021 okutuusa kati okubeera Ssentebe w'olukiiko olufuzi olw'ekitongole ki Information Communication Technology Association Uganda (ICTAU), era nga Ssentebe ku lukiiko olufuzi olwa Uganda Limited ne Board of Chance for Childhood, ekitongole ekitali kya magoba ekisangibwa mu Bungereza ekiwagira abaana abateesobola okuva mu Gwomukaaga 2020.[2][3][4][5] Y'omu ku batandisi ba ITES Innovation Hub era nga Ssentebe w'olukiiko olufuzi olwa Tekinologiya n'obuyiiya, Mugwekkuminoogumu 2023 okutuuka mu Gwokutaano 2024. Yakola nga Dayirekita atenyigira buterevu mu kuddukanya emirimu mu Stanbic Bank Uganda okuva mu Gwoluberyeberye 2020 okutuuka mu Mugwokutaano 2024.[4] Era ye Digital Transform era Avukulira abakozi mu Invest2Impact Afirika okuva mu Gwokutaano 2020.[6]

Mu mulimu gwe, essira aliteeka ku makolero ga Oil and Gas, Ebyensimbi, IT, n'ebyamasimu.

Awaadi ze n’ebituukiddwaako

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Tech She-Roe 2025.[7]
  • Signatory Women's Empowerment Principles June 2024.
  • Gold Award - UNDP Gender Equality Seal in December 2023.

Obulamu obw’omuda

[kyusa | kolera mu edit source]

Mufumbo era alina abaana babiri ab'obuwala.[8]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 "New Vision - Latest News". www.newvision.co.ug. Retrieved 2025-04-11.
  2. 1 2 Banura, Joan (2021-03-08). "NFT Consult Group CEO, Elizabeth Ntege ICATU Chairperson-elect". PC Tech Magazine (in American English). Retrieved 2025-04-11.
  3. 1 2 "Enabling environment spurring ICT growth – study". Monitor (in Lungereza). 2023-07-14. Retrieved 2025-04-11.
  4. 1 2 3 https://pctechmag.com/2021/03/nft-consult-group-ceo-elizabeth-ntege-elected-as-new-icatu-chairperson/
  5. 1 2 administrator (2025-02-24). "Elizabeth Ntege – Chairperson, ICT Association of Uganda - TICON Africa" (in Lungereza). Retrieved 2025-04-11.
  6. https://ticonafrica.org/2025/02/24/elizabeth-ntege-chairperson-ict-association-of-uganda/
  7. "Spidd's Tech She-Roe 2025: Elizabeth Ntege – A Trailblazer in Uganda's ICT Sector & Workforce Transformation – Spidd" (in American English). Archived from the original on 2025-04-11. Retrieved 2025-04-11.
  8. Namyalo, Consolate (2021-03-11). "#WomensMonth2021: Leading In A Crisis – Elizabeth Ntege - Zuba Network" (in American English). Retrieved 2025-04-11.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]