Elly Katunguka
Eli Katunguka-Rwakishaya, Munnayuganda omusomesa ku ku by'okujanjaba ebisolo era adukanaya eby'enjigiriza. Ye mumyuuka w'Akulira Kyambogo University, emu ku yunivasite za gavumenti mu Uganda. Yalondebwa ku kifo ekyo mu Gwokubiri 2014. [1] Nga tanakola ekyo, yaweereza ku Dayirekita w’Emisomo gya diguli ku Makerere University, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde n'obunene mu ggwanga.[2]
Obuvo n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Bitundi Bw'omubugwanjuba bwa Uganda, nga mu myaka gya 1955. Yagenda kusomera lya Ntare gyeyasomera siniya. Yasomera ku Makerere University, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde n'obunene mu Uganda, n’atikirwa ne Diguli mu By'okujanjaba Ebisolo. Yagenda mu maaso n’afuna Diguli Ey'okubiri mu Saayansi W'ebisolo, nga nayo yava e Makerere. Diguli ye Ey'okusatu yagifuna okuva ku Glasgow University e Scotland. [2]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Okutandika mu 1979, Katunguka yakolera mu yunivasite y’e Makerere, ng'ayamba ku basomesa, oluvannyuma ng’omuyambi w’ababangula abayizi nga w'abasomesa, omusomesa omujuvu era ng'abangula abayizi, omusomesa omukulu era ng'abangula abayizi, adirira abakenkufu, ne pulofeesa omujjuvu. Okumala emyaka 20, Katunguka yali omu kubasomesa abakulu era n’abaddukanya eby’emisoma mu yunivasite. [2]
Mu Gwokubiri gwa 2014, yalondebwa okubeera Omumyuka wa Kyambogo University. [3] Mu Gwokusatu 2019, yalondebwa nga Ssentebe w’Olukiiko Oluvunaanyizibwa ku By'enjigiriza By'amatendekero Gawagulu, okumala emyaka etaano egyaddirira. [4]
By'afulumiza
[kyusa | kolera mu edit source]- Enkyukakyuka mu biramu mu musaayi mu kugezesa obulwadde bwa Trypanosoma congolense ne Trypanosoma brucei mu mbuzi entono ez’obuvanjuba bwa Afrika. Okunoonyereza kuno kwanoonyereza ku nkyukakyuka z’ebiramu mu musaayi mu mbuzi ezisoomoozebwa oba Trypanosoma congolense oba Trypanosoma brucei n’ezo ezitali za bulwadde. [5]
- Obulwadde bwa trypanosomosis obw’ebisolo mu Uganda: obutafaanagana bw’obuwuka n’embeera y’okubulwa omusaayi mu nte, embuzi n’embizzi ezikwatibwa obulwadde mu butonde. Okunoonyereza kuno kwazuula nti obulwadde bwa trypanosomosis kye kisinga okuvaako okukendeeza ku musaayi mu bisolo mu bitundu ebirimu obulwadde buno. Ente ze zaali ebika by’ebisolo ebikulu ebyakosebwa obulwadde bwa trypanosomosis. [6]
- Enkola y’obujjanjabi bwa praziquantel obwa Schistosoma mansoni mu kiseera ky’olubuto ku maanyi g’okukwatibwa n’okuddamu kw’obutafaali obuziyiza endwadde ku antigens za schistosome: ebivudde mu kugezesebwa okwakolebwa mu ngeri ey’ekifuulannenge, okufugibwa placebo. Ekiwandiiko kino kyakebera ebikosa amaanyi g’obuwuka n’ebikosa abaserikale b’omubiri eby’obujjanjabi bwa praziquantel ku Schistosoma mansoni mu kiseera ky’olubuto, bw’ogeraageranya n’obujjanjabi oluvannyuma lw’okuzaala. [7]
- Ekitabo ekikwata ku mmere y’ebisolo. [8]
- Enkola y’obujjanjabi bwa praziquantel ku kuddamu kw’abaserikale b’omubiri ku Schistosomiasis mansoni mu kiseera ky’olubuto: Okuddamu kwa cytokine n’obutafaali obuziyiza endwadde mu bakyala ab’embuto n’abaana baabwe abawere. [9]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Anguyo, Innocent (13 February 2014). "Kyambogo University Gets New Acting Vice Chancellor". Retrieved 13 March 2015.
- 1 2 3 Administrator (2 April 2012). "Dr. Elly Katunguka, Man On A Mission". Archived from the original on 27 March 2019. Retrieved 13 March 2015.
- ↑ Mujuni, Raymond (19 June 2014). "Kyambogo Vice Chancellor Office Smooth: Professor Katunguka". Uganda Radio Network. Retrieved 13 March 2015.
- ↑ Uganda Radio Network (27 March 2019). "Museveni appoints Prof Eli Katunguka as NCHE chairperson". Retrieved 27 March 2019.
- ↑ Biryomumaisho, Savino; Katunguka-Rwakishaya, Eli; Rubaire-Akiiki, C. M. (2003-06-22). "Serum biochemical changes in experimental Trypanosoma congolense and Trypanosoma brucei infection in Small East Africa goats". Veterinarski Arhiv (in Lungereza). 73 (3): 167–180. ISSN 0372-5480.
- ↑ Biryomumaisho, Savino; Rwakishaya, Eli-Katunguka; Melville, Sara Elizabeth; Cailleau, Aurélie; Lubega, George William (2013-04-01). "Livestock trypanosomosis in Uganda: parasite heterogeneity and anaemia status of naturally infected cattle, goats and pigs". Parasitology Research (in Lungereza). 112 (4): 1443–1450. doi:10.1007/s00436-013-3275-9. ISSN 1432-1955. PMID 23344247. S2CID 253975235.
- ↑ Tweyongyere, Robert; Mawa, Patrice A.; Emojong, Nicholas O.; Mpairwe, Harriet; Jones, Frances M.; Duong, Trinh; Dunne, David W.; Vennervald, Birgitte J.; Katunguka-Rwakishaya, Eli; Elliott, Alison M. (2009-03-18). "Effect of praziquantel treatment of Schistosoma mansoni during pregnancy on intensity of infection and antibody responses to schistosome antigens: results of a randomised, placebo-controlled trial". BMC Infectious Diseases. 9 (1): 32. doi:10.1186/1471-2334-9-32. ISSN 1471-2334. PMC 2666740. PMID 19296834.
- ↑ Katunguka-Rwakishaya, Eli; Ndikuwera, Jason; Musoke, Rose Azuba (2008). "handbook on livestock nutrition" (in English).
{{cite journal}}: Cite journal requires|journal=(help)CS1 maint: unrecognized language (link) - ↑ Tweyongyere, R.; Mawa, P. A.; Namujju, P. B.; Jones, F. M.; Ndibazza, J.; Omoding, N.; Muhangi, L.; Kabatereine, N. B.; Vennervald, B. J.; Dunne, D. W.; Katunguka-Rwakishaya, E.; Elliott, A. M. (2006). "The effect of praziquantel treatment on immune responses against Schistosomiasis mansoni during pregnancy: Cytokine and antibody responses in pregnant women and their infants". The American Journal of Tropical Medicine and Hygiene (in Lungereza). American Society of Tropical Medicine and Hygiene. 75: 8.