Jump to content

Elly Tumwine

Bisangiddwa ku Wikipedia

Tumwine yazaalibwa nga 12 ogw'okuna mu mwaka gwa 1954, e Burunga mu Disitulikiti y’e Mbarara . Yasomera mu Burunga Primary School, Mbarara High School ne St. Henry's College Kitovu, nga tannayingira Makerere University.Yafuna diguli ya BA mu by'emikono nga yegasse ne Dip. Ed mu 1977. Yakuguka mu byafaayo by’okusiiga ebifaananyi mu by’emikono.

Oluvannyuma yamaliriza omusomo gwa cadet officers mu ttendekero ly'amaggye erya Tanzania Military Academy e Monduli . Era yagenda mu kkoosi y’abaduumizi abakulu mu ttendekero lya Uganda Senior Command and Staff College e Kimaka, e Jinja, Uganda, ng’ali mu kibiina kya bapayoniya ekyatikkirwa mu 2005. [1] Tumwine era yalina ebisaanyizo ebirala eby’amaggye okuva mu ttendekero e Vystry, mu Soviet Union .

  1. Newvision, Archive (6 September 2005). "Kimaka Graduates Report on Friday". New Vision. Archived from the original on 14 May 2014. Retrieved 13 May 2014.